James Churchill Ssentamu Akulira abayizi ku Makerere University era nga mutabani wakulira ensonga za’abantu abali ebweru w’eggwanga mu kibiina kya NUP, Nyanzi Fred Ssentamu nga ye James Churchill Ssentamu asubizza okukola ne government yonna enalondebwa mu mwaka 2026, okulwanyisa ebbula ly’emirimu eriri mu bavubuka okwetoloola e ggwanga.
James Churchill Ssentamu agambye nti oluyimba oluliwo mu bavubuka lwa bwavu, era yensonga emuleese okukiikirira bavubuka banne kitundu kya Buganda , okulambika eddoboozi lyabwe mu Parliament.
Bino Ssentamu Churhill James abyogeredde ku kakiiko k’ebyokulonda mu Industrial Area mu Kampala, bwabadde amaze okusunsulwamu ku kifo ekyo.
Ono atalina kibina kyagidde agambye nti asazeewo okujja nga namunigina okusobola okukuumira abavubuka awamu nga tebeyawudde yawudde lwebajja okutuukiriza ebigendererwa byabwe.#













