• Latest
  • Trending
  • All
Nnaabagereka Nagginda awabudde ku ky’abaana n’abakyala abafiira mu ssanya – amateeka n’obuwangwa bisobola okukendeeza embeera

Nnaabagereka Nagginda awabudde ku ky’abaana n’abakyala abafiira mu ssanya – amateeka n’obuwangwa bisobola okukendeeza embeera

October 22, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

May 23, 2026
Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

May 23, 2026
Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

May 23, 2026
Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

May 22, 2026
Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

May 22, 2026
Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

May 21, 2026
Government ya Uganda eyimirizzaamu ennyonyi eziva mu DRC, awamu n’ebidduka ebirala okuyingira Uganda okutaangira ekirwadde kya Ebola

Government ya Uganda eyimirizzaamu ennyonyi eziva mu DRC, awamu n’ebidduka ebirala okuyingira Uganda okutaangira ekirwadde kya Ebola

May 21, 2026
Abadde sipiika wa Parliament Anitah Among aggyiddwako emmotoka zonna ezaali zaamuweebwa government okukola emirimu – siwakuddamu kwesimbawo ku bwa sipiika

Abadde sipiika wa Parliament Anitah Among aggyiddwako emmotoka zonna ezaali zaamuweebwa government okukola emirimu – siwakuddamu kwesimbawo ku bwa sipiika

May 21, 2026
Okulonda anaakulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 – ababaka 4 bebatunuuliddwa

Okulonda anaakulira oludda oluvuganya government mu parliament eye 12 – ababaka 4 bebatunuuliddwa

May 21, 2026
Alipoota y’eddembe ly’obuntu mu Uganda eya 2025 efulumiziddwa – ebikolwa eby’okutulugunya abantu byali bingi mu kwetegekera akalulu ka 2026, ne bannauganda  abasiinga obungi tebafuna buweereza busaanidde mu by’obulamu

May 20, 2026
Uganda etandise okukola eddagala eriweweeza obulwadde bwa Nalubiri oba Sicklecell – liyitibwa Sikurea Hydroxyrea 500mg

Uganda etandise okukola eddagala eriweweeza obulwadde bwa Nalubiri oba Sicklecell – liyitibwa Sikurea Hydroxyrea 500mg

May 20, 2026
Ab’ebyokwerinda baboye emmotoka endala 3 ez’abadde sipiika wa Parliament Annet Anitah Among okuva mu maka ge e Nakasero

Ab’ebyokwerinda baboye emmotoka endala 3 ez’abadde sipiika wa Parliament Annet Anitah Among okuva mu maka ge e Nakasero

May 20, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Health

Nnaabagereka Nagginda awabudde ku ky’abaana n’abakyala abafiira mu ssanya – amateeka n’obuwangwa bisobola okukendeeza embeera

by Namubiru Juliet
October 22, 2025
in Health
0 0
0
Nnaabagereka Nagginda awabudde ku ky’abaana n’abakyala abafiira mu ssanya – amateeka n’obuwangwa bisobola okukendeeza embeera
0
SHARES
54
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Nnaabagereka Sylvia Nagginda, awabudde abakulembeze b’ennono, bannadiini, ne banna byabufuzi okwongera amaanyi okulwanyisa emize ejiviirako abaana okufuna embuto nga bakyali bato, Uganda bweba yakulwanyisa omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda, okwogera bino abadde ku Speke Resort e Munyonyo mu lukuηaana lwabakwatibwako ensonga, nga  bakubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okwongera okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya mu Uganda.

Nnaabagereka nga yaabadde omwogezi owenjawulo mu lukuηaana luno, agambye nti abaana abato bafunisibwa embuto,  abakwatibwako ensonga obutakola kimala buvunanyizibwa bwabwe, bannadiini okusirika ekisusse.

Agambye nti waliwo n’obuwangwa obulina okwekennenyezebwa nga bulemesa abakyala abalina embuto okugenda mu malwaliro okunywa eddagala, ebyentambula ebiremesa abakyala okutuula mu malwaliro agalimu abakumu, bye bimu kubirina okussibwako essira okukendeeza embeera eno.

Agambye nti abaana okuzaala nga tebaneetuka, balwala endwadde ng’okutonya, okuvaamu omusaayi omungi, sso nga naabamu tebagenda mu malwaliro olwokutya okuvunanibwa mu mateeka, n’okukweka embuto nebatanywa ddagala lyetaagisa ku buli mutendera gw’olubuto.

Ebiwandiiko biraga nti newankubadde omuwendo gwabakyala abafiira mu ssanya gukendeddeko okuva ku bakyala 334 okudda ku bakyala 189 ku buli bakyala emitwalo 10 abazaala, ekiruubirwa ekiriwo kyekyokulaba ng’omuwendo gwongera okukendeera, waakiri ku bakyala 70 bokka buli mwaka kwabo abakyala emitwalo 10 abazaala.

Ebiwandiiko era biraga nti n’omuwendo gw’abaana abafiira mu ssanya gwakendeeramu okuva ku baana 29 ku buli baana 1,000 abazaalibwa okudda ku baana 28 ku buli baana 1000 abazaalibwa, naye omuwendo guno gukyali waggulu nnyo.

Avunanyizibwa ku kusomesa abantu ku kwewala endwadde mu ministry yeebyobulamu, Dr Richard Kabanda, ku lwa minister weebyobulamu, Dr Jane Ruth Aceng, agambye nti baluubirira n’okwekubamu tooci ku byebatuuseko mu mwaka omulamba, okuwongera okutereeza eby’obulamu bw’abakyala.

Dr. Richard Mugahi, avunanyizibwa ku kusomesa abantu ku byokuzaala mu ministry yeebyobulamu agambye nti bakizudde ng’embeera yaabakyala abasinga okufiira mu ssanya, basangibwa mu Kampala, era ng’ebizibu ebisinga okubatta kuba kuvaamu musaayi omungi, n’obutaba nansimbi zimala okusasula ebisale byamalwaliro.

Bisakiddwa: Ddungu Davis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany
  • Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we
  • Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda
  • Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere
  • Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist