Eyaweebwa kaadi ya National Unity Platform ku kifo ky’omubaka wa Bukoto Central asobeddwa, olwomuntu omulala ate okwewandiisa nti akwatidde ekibiina ekyo bendera.
National Unity Platform kaadi ya Bukoto Central yagiwa Alex Kalinzi Ntamu, oluvannyuma lw’okujiggya ku Jamill Kivumbi.
Kalinzi agamba nti Kivumbi yakedde nnyo ku makya ku lunaku olusooka olw’okusunsula, neyewandiisa ng’owa NUP era naaweebwa akabonero ka Manvuuli.
Alex Kalinzi Ntamu naye oluvannyuma atuuse ewasunsulibwa, gyebakamutemedde nti Manvuuli yawandiisiddwako Jamil Kivumbi.
Kalinzi agambye nti wakuddukira mu kooti awawabire Jamil Kivumbi amuliyirire, olw’ensimbi zaatadde mu kweteekerateekera okusunsulwa ng’akozesa manvuuli, wabula nagimusoona.
Wabula Jamil Kivumbo tanabaako kyatangaaza ku nsonga eno.#













