Omubaka wa Busiro East Medard Lubega ssegona alangiridde mu butongole nti agenda kuvuganya bwa nnamunigina mu kalulu akajja 2026, oluvanyuma lw’ekibiina ki NUP okumumma kaadi neweebwa omuyimbi Mathias Walukagga, abadde mayor wa Kyengera Town Council.
Ssegona okulangirira bwati asinzidde mu nsisinkano n’abamu ku batuuze, abakulembeze nabantu abeebuzibwako ensonga mu kitundu Kya Busiro East nga ensisinkano eno etudde mu makaage e Nakasozi Buddu.
Mu ngeri yeemu, Omubaka omukyala owa District ye Mityana Joyce Bagala Ntwatwa alangiridde mubutongole nti agenda kwesimbawo bwa Namunigina, oluvanyuma lwekibiina kyeyakwatira Bendera mu kalulu ka 2021 ekya NUP okugaana okumuwa omukisa ku kalulu akaddako 2026, ekibiina kyamusikizza munnakatemba Proscovia Mukisa amanyiddwa nga Nabbosa.
Bagala abadde asisinkanye abawagizi be abakiηaanidde mu makaage ku kyalo Mbaliga ekisangibwa mu division ye Ttamu mu munisipaali ye Mityana.
Joyce Bagala ategezezza nti atadde amaanyi ge mangi mu nsonga z’obukulembeze bwa District ye Mityana nga nabwekityo amaanyi ago tayinza kugaleka kufa ttoge.#













