Akwatidde ekibiina ki Forum for Democratic Change FDC bendera okuvugannya ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga Nathan Nandala Mafabi, asuubizza banna Buikwe nti wakugabira buli kyalo obukadde bwe nsimbi kikumi, okusobola okubabbulula mu ddubi ly’obwavu lye batubiddemu era kino wakukitukiriza amangu ddala ng’abamwesigisa ne ntebe ennene.
Mafabi okwogera bino abadde Nkokonjeru mu diatrixt ye Buikwe, gyatandikidde kampeyinize, ng’aperereza abalonzi okumuwa akalulu akanamutuusa ku bwa president.
Ono olukungaana lwe olusoose alukubye Nkokonjeru , nadda e Kiyindi ku mwalo, Buikwe mu tawuni , Lugazi mu tawuni ng’olukungaana lwe olusembyeyo alukubye Njeru.
Mu bitundu ebimu ng’enajjembe ku katale abasirikale ba police bamukkirizza okubuzaako ku bakolera mu katale kano.
Mafabi agamba nti obukuggu bwalina mu byenfuna bumumala okubbulula bannauganda mu ddubi Ly’obwavu lyebatubiddemu, era kino wakukituukako ng’alinya ku nfeete abalyaake bonna.#













