Ekibiina kya National Unity Platform kisomedde abasagizi baakyo Manifesto yabwe kwebagenda okutambuliA eggwanga, singa banna Uganda babakwasa obuyinza mu kalulu akajja 2026-2031.
Manifesto eno esomedwa omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine.
Luno lwerubadde olukuηaana lwe olusookedde ddala, lubadde ku St.Gonzaga Kagoma Primary School e Buwenje mu Jinja City.
Empagi 11 zaayanjudde ezirambikiddwa mu kitabo obwaguuga, zebagenda okwesigamako okukulemberera eggwanga singa bannauganda bamwesiga nebamulonda ku bwa president mu 2026-2031.
1- Okuziimba enkolagana n’amawanga amalala agawa bannauganda emirimu n’obuweereza obwenjawulo, okutereeza ebyenfuna bye ggwanga mu Uganda empya,
2-Okubangirawo abavubuka emirimu, era nti omwaka 2032 wegunaatuukira, emirimu obukadde 10 gyegijja okuba nga gitondeddwawo.
3-Okutumbula Obumu bwa bannauganda
4- Ebyenjiriza byakubeera bya bwereere mu masomero ga government gonna, nga n’ebikozesebwa abaana babisangayo ku ssomero, omuli n’ebyokulya ebiteekeddwateekeddwa obulungi.
5- Okuggumiza obuweereza bwa government ez’ebitundu.
6- Bannauganda okuganyulwa mu buweereza bw’eggwanga ekyenkanyi, omuli amazzi amayonjo, ebyobulamu,eby’obulimi n’obulunzi.
Kyagulanyi agambye nti Busoga byebimu bu kitundu by’egwanga ebikyasinzeemu obwavu kyokka nga abaayo balimi ba bikajjo naye tebabifunamu sente zegasa era,nakino ayagala kukikomya.
6- Okutereeza ebyobusubuzi by’eggwanga abantu babakendereze ku misolo egibabinikibwa egituuse n’abamu okubagoba mu busuubuzi.
7- Okukomya ekibba ttaka ekisusse mu ggwanga ekifudde abantu emmomboze munsi yabwe.
8- Okutaasa Ssemateeka w’eggwanga, eddembe ly’obuntu n’obwenkanya
9- Okulwanyisa obulyi bw’enguzi n’okudiibuda mu government
10- Okukuuma eby’obugagga by’eggwanga ebyensibo.
11- Okutumbula enkola ya Technology n’okusitula enkola y’emirimu mu ggwanga.
Kyagulanyi awadde abe Busoga omulimu okwongera okubunyisa enjiri ye nkukakyuuka mu ggwanga.#













