Munnakibiina kya Common Man’s Party Mubarak Munyagwa amanyiddwa nga Mugaati gwa Bata, asunsuddwa akakiiko k’eby’okulonda okuvuganya ku ntebe ennene ey’obwapresident bwa Uganda mu kalulu ka 2026.
Munyagwa awerekeddwako mukyala we ne ba memba b’ekibiina abalala.

Munyagwa olumaze okusunsulwa agambye nti singa bannauganda bawesiga nebamulonda ku bwa president, buli munnauganda ajjakufuna omukisa ogulya ku keeki y’eggwanga.
Agambye nti mu nnaku ekikumi ezisooka ng’alondeddwa, wakusunsula abasigansimbi abava mu mawanga amalala, bagambye nti abamu banyunyuunta eggwanga, saako omukago gwa East Africa gw’agambye nti nagwo gwetaaga okuddamu okwekennenya okukakasa oba nga gugasa Uganda.













