Akakiiko k’ebyokulonda kasunsudde akutte bendera y’ ekibiina kya Revolutionary People’s Party, ku kifo ky’obwa President Bulira Frank Kabinga.
Kabinga yoomu ku basunsuddwa ku lunaku olusembyeyo era yasembeddeyo ddala okusunsulwa.
Bulira olumaze okusunsulwa nawera nti mwetegefu okukyusa eggwanga liddukire ku misinde kweririna okuddukira mu by’enkulakulana.













