President wa National Unity Platform NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu akakasiddwa okuvuganya ku ntebe y’obwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026.
Kyagulanyi asuunsuddwa ku ssaawa munaana ez’emisana, naaweza omuwendo gw’abantu 6 abakakasiddwa akakiiko k’ebyokulonda aka The Electoral Commission of Uganda okuvuganya ku bwa president.

Awerekeddwako mukyala we Barbie Itungo Kyagulanyi n’abakulembeze ba NUP abalala.

Aweereddwa emmotoka, abakuumi ne alijesita y’abalonzi.
Oluvannyuma ayogeddeko eri bannamawulire nategeeza nti bwalondebwa ku president agenda kuleetawo enkyukakyuka ey’omuggundu, mu nteekateeka gyayise Uganda Empya.

Agambye nti government eriko ekuumidde bannauganda emabega, ng’ebassa obwavu, ng’etuulidde eby’obugagga byabwe n’eddembe lyabwe.
Mu kusooka wabaddewo okukuba omukka ogubalagala nga police egumbulula abantu ababadde bakwatiridde ku nguudo nga bawerekera Kyagulanyi abadde agenda ku kakiiko k’ebyokulonda okusunsulwa, era ng’ogusiinga obungi bagukubidde ku Ttaawo lye Kawaala ku luguudo lwa Northern Bypass.

Kyagulanyi olumaze okusunsulwa naayolekera akasaawe ka Kkaala e Nateete, abawagizi be gyebabadde bamulindiridde, wabula yonna gyabadde ayita ng’enguudo zikwatiridde abantu, naddala ku nkulungo y’e Busega okuva ku Northern Bypass gyavudde, ng’ayolekera Nateete.
Abantu abaasunsuddwa mu nnaku ebbiri, kuliko owa NRM Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, owa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, owa National Peasants Party Robert Kasibante, owa Conservative Party Elton Joseph Mabiriizi ne Nandala Mafaabi owa FDC.
Abalala ye Rtd Maj.Gen.Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation ANT, Bulira Frank owa Revolutionary People’s Party ne Mubaraka Munyagwa owa Common Man’s Party.













