Munnakibiina kya National Alliance for Transformation ( ANT) Rtd. Major General Mugisha Muntuyera Gregory akakasiddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026.
Muntu eyasoose obutalabikira ku balina kusunsulwa olw’obutaweza mikono gyassalira egy’abamuseemba, kyaddaaki agiwezezza era naasunsulwa, ng’awerekeddwako bannakibiina kye.
Muntu naye akwasiddwa emmotoka 2 saako abakuumi, awamu ne alijesita y’abalonzi.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire nga yakamala okusunsulwa, Muntu agambye nti NRM eremereddwa okuleeta obuweereza obw’enkizo eri banna Uganda nebakuumira mu bwavu.

Mugisha Muntu agambye kyasiinga okuyaayaanira kwekukyusa embeera ya bannauganda n’eggwanga lyonna.
Awadde eky’okulabirako nti obwavu obuyitiridde mu bannauganda bubamazeemu essuubi, nga n’omuntu okukuwa omukono okwesimbawo nti ng’asooka kusaba ssente.

Oluvannyuma lw’okutuukiriza obwakkulizo bw’akakiiko k’ebyokulonda, ANT etongozza ekifaananyi ky’omuntu wabwe, kyebagenda okukozesa mu kalulu 2026.#













