Munnakibiina kya FDC Nathan Nandala Mafabi asunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya ku bwa President wa Uganda mu kalulu ka 2026.
Oluvannyuma lw’okusunsulwa, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama akwasizza Nandala emmotoka n’abakuumi, e Lubowa ku luguudo lwe Entebbe, akakiiko gyekaakubye enkambi era ewategekeddwa enteekateeka z’ebyokulonda 2026.
Awerekeddwako mukyala we, president wa FDC Patrick Amuriat Obbo ne bannakibiina abalala.

Nandala awezezza omuwendo gw’abantu 4 abaakasunsulwa okuvuganya ku bwa president mu kalulu akajja aka 2026.
Nandala agambye nti singa anaalondebwa ku ntebe ennene ey’eggwanga, wakussa essira kukutumbula ebintu ebyenkizo ebitaambulirwako obulamu bwa bannauganda, okutondawo emirimu n’okusitula embeera za bannauganda.
Assuubizza okussa amaanyi n’enkizo ku bibiina by’obwegassi okukulaakulanya bannauganda kinnoomu nga babeera n’ensimbi mu nsawo, naddala nga bayita mu by’obulimi n’emirimu.
Oluvudde ku kakiiko k’ebyokulonda Nandala Mafaabi naayolekera ekisaawe kye Butabika mu Kampala okusisinkana abawagizi be.
Mu kiseera kino abantu abana abaakasunsulwa kuliko owa NRM Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, owa National Peasants Party Robert Kasibante, owa Conservative Party Elton Joseph Mabiriizi ne Nandala Mafaabi owa FDC.
Abalala abalindiridde okusunsulwa ye Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine owa NUP ne Rtd Maj.Gen.Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation ANT.













