President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda ka The Electoral Commission of Uganda e Lubowa, ku tiketi ya NRM okuddamu okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026.
President Museveni avuganya ku kisanja kya musanvu, okuva ku kalulu ka 1996.
Atuuse ku kakiiko k’ebyokulonda ku ssaawa ssatu n’eddakiika 55, ng’awerekeddwako mukyalawe Janet Kataha Museveni, ne bannakibiina abalala 20 abamuwerekeddeko.
Okusunsulwa obadde olina okuba ng’oweza emikono 100 okuva mu buli district eziwera wakiri 98, n’okuba ng’osasudde obukadde bwa shs 20.
Bwamaze okusunsulwa aweereddwa emmotoka 2 okuva mu kakiiko zaagenda okukozesa okukuba kakuyege, nga ziriko n’abakuumi.

President Museveni olumaze okusunsulwamu akakiiko k’ebyokulonda, okuvuganya mu kulonda kwa 2026, naakebaza olw’omulimu omunene gw’ekakoze okusunsula ebiwandiiko bye.
Abebazizza olw’okuyooyoota ekifo webamusunsulidde ku kibangirizi kya The Electoral Commission of Uganda e Lubowa, kyagambye nti akijjukira bulungi nga kyalingako majaani, wabula kati kifuuse kyabyafaayo ewasunsuliddwa abesimbyewo mu kalulu ka 2026.
Yebazizza n’ ababaka ba NRM bonna olw’okumuwa obwesige obulala, nebamulonda nga Ssentebe wa NRM ku kisanja ekijja ekya 2026–2031.

President Museveni assuubizza okukolaganira wamu n’abasiga nsimbi okuva mu mawanga amalala, okutuusa amazzi amayonjo mu buli kanyomero ka ggwanga, okulwanyisa enguzi n’ebirala ebigenderera okukyusa embeera ya bannaUganda.
President Museveni bwavudde ku kakiiko k’eby’okulonda agenze butereevu ku kisaawe e Kololo bannakibiina kye gyebabadde bakuηaanidde.

Agambye nti emisingi gyonna eginaleeta enkulaaulana mu Uganda gizimbiddwa, kati ye ssaawa okuzimba n’okuttaanya byonna ebikyasigalidde.
Agambye nti agenda kwongera ku mutemwa gw’ensimbi mu nteekateeka ya Parish Development Model, buli muluka gwongerweko obukadde bwa shs 15 era nga zino okusiinga zakuweebwa bakulembeze b’ebitundu.













