Abantu 3 bebagenda okusooka okusunsulwa nga 23 September,2025 okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026.
Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aka The Uganda Electoral Commission of Uganda, Simon Mugenyi, okusunsula kwakutandika ku ssaawa nnya ez’okumakya.
Abagenda okusunsulwa kuliko Robert Kasibante National Peasants Party, Elton Joseph Mabiriizi azze nga Nnamunigina ne Yoweri Kaguta Museveni Tibuhabirwa owa NRM era president wa Uganda aliko.
Abalala abakakasiddwa abasuubirwa okusunsulwa nga 24 September,2026, ye Robert Kyagulanyi Ssentamu owa NUP ne Nathan Nandala Mafaabi owa FDC.#













