Police mu Kampala n’emiriraano eggalidde kazannyirizi wokumitimbagano, TikToker Jinjo Nassif emulanga kusasaanya mawulire ga bulimba era agattattana ekitiibwa kyÓmuntu.
Omukwate Jjingo Nassif okukwatibwa kiddiridde okukozesa omukutu gwa TikTok n’abika omubaka wa parliament akiikirira Mawokota South, Yusuf Nsibambi nti afudde ekitaabadde kituufu.
Kigambibwa nti Omukwate aliko omuntu avuganya nÓmubaka Yusuf Nsibambi eyamuwadde ensimbi emitwalo kkumi 100,000, asasaanye amawulire agÓbulimba.
Jingo ategeezezza police nti yaweereddwa ensimbi okusasaaanya Amawulire ag’obulimba.
Omwogezi wa police mu Kampala nÉmiriraano Patrick Onyango alabudde ku nkozesa embi eyÉmitimbagano, nategeeza nti omukwate wakuvunaanibwa emisango omuli enkozesa ya computer embi.
Onyango alabudde nti mu biseera byÉbyobufuzi nga bino abantu bangi basalawo okuttattana amannya ga bannaabwe nga bakozesa ebigambo ebisongovu, ekiyiinza okubaleetera ebizibu.
Bisakiddwa: Kato Denis













