Ssabaddumizi wa Police ya Uganda Abas Byakagaba agumizza bannauganda nti betesetese bulungi okubawa obukuumi obwannamaddala n’ebintu byabwe mu kulonda kwa 2026 okukubye koodi, era alabudde bannabyabufuzi okugondera amateeka aganaaba gabaweereddwa.
Enteekateeza z’okulonda abakaulembeze abaddako mu kisanja ekya 2026 -2031 zigenda mu maaso, okuviira ddala ku ba ssentebe b’ebyalo okutuuka ku president w’eggwanga.
Okulonda kutandika nga 12 January 2026.
Akakiiko k’e byokulonda kakusunsula abantu bonna abagala okwesimbawo ku bwa President nga 23 ne 24 September,2025.
Ekibiina kya NRM ne NUP byalangiridde dda nti abantu babwe ababakwatidde bendera bakugenda okusunsulwa ku lunaku olusooka ku Tuesday nga 23, wadde ng’akakiiko k’ebyokulonda tekanafulumya nnambika nnambika yabesimbyewo bwebaneddiriηana mu kusunsulwa.
Ssaabaduumizi wa Police Abas Byakagaba ategezezza nti betegese bulungi n’e bitongole ebirala ebikwatibwako okulaba ng’okulonda kuno kubeera kwa mirembe ewatali muntu yenna afuniramu buzibu wadde okuyiwa omusaayi.
Byakagaba asabye abavubuka obutakkiriza kukozesebwa bannabyabufuzi abenonyeza ebyabwe okubatwala mu bintu ebimenya amateeka.
Police agamba nti tegenda kuba namukwano eri omuntu yenna anagezaako okuva ku mateeka aganaaba gaweereddwa police n’akakiiko k’ebyokulonda, era anagavaako tewali kuwananya wakukwatibwa avunanibwe mu mbuga za mateeka.
Okusinziira ku mwogezi w’a kakiiko ke byokulonda Julius Muchunguzi akakiiko kagenda kufulumya ennambika eyo essaawa yonna, era naasaba abagenda okusunsulwa okujigoberera.
x













