Ebbugumu libadde lyamanyi nnyo ku kitebbe kya NUP e Makerere Kavule mu Kampala, akakiiko keby`okukonda mu kibiina kino bwekabadde kasunsula abegwanyiza okubakwatira bendera ku bifo by`obubaka bwa Parliament.
Abasuunsuddwa bebegwanyiza okukwatira NUP bendera ku bubaka mu Kitundu Kya Kampala, Acholi ne Ankole.
Okusinga embiranye eyamanyi eri mu bitundu ebiri mu Kampala, okugenzi ku kifo ky`Omubaka Omukyala owa Kampala ekivuganyizibwako Shamimu Malende ne Zahara Luyirika, ekifo Kya Lubaga South ekivuganyizibwako Alosius Mukasa, Euginea Nassolo ne Obed Lubega.
Nebifo ebirala mu ggombolola zonna etanu ezikola Kampala nabyo bibaddemu ebugumu lyamanyi nnyo.
Mungeri eyenjawulo Ali Kasirye Nganda Mulyanyama asobeddwa bweyakyusizza okuva kuva ku kifo Kya Makindye West nadda Mukifo kya Makindye East, ate omubaka ali mu kifo kino Derrick Nyeko eyali agambye nti takomawo kuvuganya naye bwazze ku kitebe okusunsulwa.
Harriet Kyemutayi akuliira akakiiko keby`okulonda mu NUP, asabye abo bonna bannakibiina abagya okusunsulwa nga bali ku Kifo kyekimu bakomye embiranye , nti kubanga ebifo sibyakufa nakuwona.
Kunsonga yabantu babwe abali mu makomera abatasobodde kusunsulwa, Joel Ssenyonyi omwogezi wekibiina agambye nti abantu banno bagenda kubateerawo enteekateeka eyenjawulo.
Bisakiddwa: Musisi John













