Abatuuze mu byalo by’omuluka gwe Kigezi mu ggombolola ya Maddu Rural mu district ye Gomba baguddemu ekiyongobero, omugole Omukazi bwafudde nga kyebajje bamale okumugatta empeta ne bba.
Entiisa eyo eri ku kyalo Kikoonoka Kigezi Maddu.
Omugole Omukyaala ategeerekeseeko erinnya limu lyokka erya Rechael wa myaka 25, muwala w’omutuuze Munyabujingo owokukyalo Kitwe Kigezi Maddu bwakutuse naafa oluvannyuma lw’okumukuba empeta nebba Allan Mwoozyo mutabani w’omutuuze Kasiime owe Kikoonoka Kigezi.
Abafubo bombi baasoose ku mukolo , Omukyaala kweyayanjulidde bba Allan Mwoozyo mu maka ga kitaawe, ku luanku olwokutaano era abako baawaddeyo ebirabo ebiwerako nga n’Omugole Omukyaala yabadde mulamu nga talina kimuluma.
Enkeera ku lwomukaaga baagattibwa mu kanisa y’abalokole e Maddu eya God’s care.
Nga bamalirizza okukuba ebiragaano by’obufumbo, omugole Omukyala yatandise okunafuwa olwo kwekumuddusa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi.
Omukolo gw’embaga ku kyalo Kikoonoka gwaagenze mumaaso wadde abagole bombi tebaagubaddeko.
Omugole Omukyala nti akawungeezi kulwomukaaga yassuuse, olwo ku Ssande nga 14 September,2025 basazeewo okutegekawo omukolo omutonotono ogw’okubuuza ku batuuze b’ekyalo.
Wabula abagole baabadde beetegeka okugenda ku mukolo okubuuza ku bantu, ate omugole Omukyala yazeemu okunafuwa nebamuddusa mu ddwaaliro lya government erya Maddu Health centre 4 gyeyafiiridde.
Abatuuze b’ekitundu eky’e Kigezi Maddu abakulembeddwamu Ssentebe wa LC Kigozi Mike Twamulabirawo ne Nsereko Samuel ngoono yeeyabadde kalabaalaba ku mukolo gw’embaga, bagambye nti okufa kw’omugole Omukyala kubakubye wala.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo













