Akakiiko ka NRM aakatekebwawo President Museveni okuwuliriza emisango gyabanna NRM abemulugunya ebyava mu kulonda abakulembeze babwe kasazizzamu okulonddebwa kwa mutabani wa Tanga Collins
Akulira ebyamateeka mu NRM Enoch Barata ategezeza cbs nti Dr Tanga Odoi takirizibwa kwetaba mukalulu k’abavubuka kano, olwe bigambibwa nti ayinza okuba alina kyekubiira olwa mutabani we Tanga Collins akalimu, era asabye abavubuka okusigala nga bakkakamu baddemu okulonda abakulembeze babwe ku bifo ebyenjawulo.
Barata era agambye nti tewagenda kubaawo tabamiruka wa NRM mulala, abavubka bagenda kulonda okuyita mu bakulembeze bwabwe.
Akakiiko k’ebyokulonda aka NRM kaweereddwa ennaku 21 zokka okuteekateeka okulonda kuno.
Brenda Kicoco nga yeyavuganya ne Tanga Collins mutabani wa ssentebe w’a kakiiko ke byokulonda aka NRM Tanga Odoi, asanyukidde ekisaliddwawo akakiiko nagamba nti osanga banafuna akalulu akamazima n’obwenkanya.
Tanga Collins yali alangiriddwa ku buwanguzi bw’akulira abavubuka mu kibiina, wabula abamu ku bavubuka nebemulugunya nga bagamba nti ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM era nga kitaawe Tanga Odoi yandiba ng’alina engeri gyeyabbiramu mutabani we obululu.#











