Banna kibiina ki National Resistance Movement (NRM) abava mu bitundu bya Buganda, abaagwa mu kamyufu kaakyo ku mutendera gwa District n’ababaka ba parliament, bakkiriza okuwagira abaabawangula.
Bagamba nti kino bakisazeewo ku lw’ekibiina kisobole okweddiza ebifo byakyo ebyakitwalwako abavuganya government mu kalulu akaayita aka 2021
Abanene mu NRM okuli amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda Kyeyune Haruna Kasolo, Ssaabawolereza wa Government Kiryowa Kiwanuka naabalala basoose kwogereza banna NRM abo mu nsisinkano ebadde mu Kampala nti baleke kukulembeza biruubirirwa byabwe nga abantu, wabula bakulembeze ekibiina.
Ssaabawolereza wa government abasuubizza nti buli akkiriza naalekera eyamuwangula mu kamyufu agenda kukola enteekateeka amutwale mu state house abuulire omukulembeze w’e ggwanga ebimuluma.
Oluvannyuma lwokubakkirizisa, abakulembe ba NRM mu Buganda nga bakulembeddwamu amyuka Ssentebe wa NRM atwala Buganda Kyeyune Haruna Kasolo, bategese olukungaana ku hotel Africana mu Kamapla abaagwa mu kamyufu k’ekibiina ekyo okwetoloolo Buganda mwebasinzidde nebalangirira nti ku lw’obulungi bw’ekibiina bakkiriza okuwagira abaabamegga mu kamyufu.
Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka wano waasinzidde neyeebaza bonna abakkiriza okuva mu lwokaano bawagire abaabawangula, bwatyo naasaba abatonotono abakyesisiggiriza okukola nga bannaabwe bwebakoze kubanga teri muntu munene kusiinga kibiina.
Bisakiddwa: Ssekajiija Augustus













