Police mu district ye Lwengo eri ku muyiggo gwa musajja mukulu eyewambye, nga wabadde wabulayo olunaku lumu okumwanjula mu bakadde ba mukyala we.
Byakatonda Daniel yayigibwa, oluvannyuma lw’okwewamba nga wabulayo olunaku lumu okukyala ewabwe w’omukyala gwalinamu abaana.
Kigambivwa nti musajja mukulu ono yewamba nga 29 August,2025, oluvannyuma lw’okulumba mukyala we nti anonye masuuti ganayambala ku mikolo naye okuva olwo taddangamu kulabika
Omwogezi wa police mu Bendobendo erye Masaka Twaha Kasirye agambye nti omusajja ono ,bakitegede nti yeyewambye olw’ensonga nti akuba essimu nabeerako abantu baayogera nabo.
Twaha Kasirye agambye nti police etandise okumuyigga era bagenda kumukwata lwakuteeka bantu kubunkenke n’okuwugulaza ab’ebyokwerinda
Bisakiddwa: Lukenge Sharif












