Akulira akakiiko kabamusiga ensiimbi mu Maka g’obwa President aka State House Investors Protection Unit Col Edith Nakalema, alabudde abayizi abasuulirira abaana babwe nebatabawa budde kwogerako gyebali, nti bakotoggera eggwanga ery’enkya.
Agambye nti buvunaanyizibwa bw’abazadde okukuliza abaana mu ddiini, bakule nga bamanyi Katonda, basobole okwaηanga obulungi embeera y’ensi.
Col Nakalema agambye nti abantu abatya Katonda tewali kisobola kubayimirira mu maaso ,kwekuwa abayizi abakyasoma amagezi okukulembeza Katonda mu mbeera yonna gyebasanga.
Col Edith Nakalema abyogeredde ku ssomero lya Kitebi Secondary School erisangibwa e Wakulukuku mu division ye Lubaga mu Kampala, bwabadde ayogeerako nabayizi ku bikwata ku kwagala eggwanga lyabwe.
Mungeri Nakalema asabye abazadde okwogera nabaana babwe buli kaseera basobole okumanya ebibasoomooza mu bulamu mwebawangalira, kibawe omukisa okubigonjolera wamu.

Omukulu wesomero lya Kitebi Secondary School Hajji Muhammed Kamulegeya yebazizza Col Nakalema olw’okuwaayo akadde nayongera eri abayizi, ekyongedde ettoofali ku mulimu gw’okuziimba abayizi abalina ensa.#










