Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya National Unity Platform kongezaayo ekiseera eky’ okukwata empapula z’abegwanyiza okukwatira ekibiina kino bendera ku bifo ebyenjawulo okutuuka nga 25 omwezi ogujja ogwa July,2025.
Banna kibiina kino bemulugunuizza nti bangi baasibiddwa ebweru, ate nga abalala balina ebizibu mu mpapula z’obuyigirize
Enteekateeka eno yabadde ekomekerezeddwa nga 23 Junr,2025, wabula nekosebwa ab’ebyokwerinda, bwebaabadde bagumbulula abantu abangi abaabadde beyiwa ku kitebe e Kavule mu Kampala nebataataaganya emirimu gy’abantu abalala abaliranyeewo.
Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya NUP Janefer Chemtai agambye nti wadde nga bongezaayo okukwata empapula za begwanyiza ebifo ebyenjawulo naye bataddewo obukwakulizo eri abo abesimbyeewo.
Agambye nti tebagenda kukkiriza muntu yenna aleeta mpapula kugya nabantu bangi okwewala okutaataganyizibwa.
Akinogaanyiza nti abantu emitwalo 5 mu kiseera kino bebakaggyayo empapula ku bifo ebyenjawulo ,wadde nga omuwendo guno gusuubirwa okulinnya nga bwebakyakungaanya ebirala ebivudde mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo
Agambye nti ebifo byonna okwetoloola eggwanga balinako abantu ababyegwaanyiza ate nga basukka mwoomu.
Johnmary Ssebuufu omumyuka wa ssentebe agambye nti ebbanga lyebongezaayo bagenda kulikozesa okwogerezeganya n’abamu ku besimbyeewo bave mu lw’okaano nga bayise mu kwogerezeganya.#










