• Latest
  • Trending
  • All
Kabaka Mutebi@70: Ebyoto bikumiddwa okwetoloola Obwakabaka – essira liteekeddwa kukulwanyisa siriimu n’omusujja gw’ensiri

Kabaka Mutebi@70: Ebyoto bikumiddwa okwetoloola Obwakabaka – essira liteekeddwa kukulwanyisa siriimu n’omusujja gw’ensiri

April 6, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

May 21, 2025
Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

May 21, 2025
Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

May 21, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Health

Kabaka Mutebi@70: Ebyoto bikumiddwa okwetoloola Obwakabaka – essira liteekeddwa kukulwanyisa siriimu n’omusujja gw’ensiri

by Namubiru Juliet
April 6, 2025
in Health
0 0
0
Kabaka Mutebi@70: Ebyoto bikumiddwa okwetoloola Obwakabaka – essira liteekeddwa kukulwanyisa siriimu n’omusujja gw’ensiri
0
SHARES
132
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ebyoto bikumiddwa okwetoloola embuga zonna ez’amasaza n’amagombolola mu Buganda, ng’essira liteekeddwa kukusomesa abantu okutumbula eby’obulamu naddala nga balwanyisa siriimu, ng’ekimu ku bikujjuko ebyategekeddwa okujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi ogwe 70.

Ekyoto kino kibadde ku kitebe ky’essaza Buddu

Ba minister ba Kabaka, abataka abakulu b’obusolya, ab’amasaza n’abakungu ambalala basiibye ku mbuga z’amasaza nga basomesa abantu ku by’obuwangwa n’ennono, eby’obulamu n’ebirala.

E Kyadondo:
Abavubuka bakubiriziddwa obutemanyiiza byabwereere

Minister  wa Kabaka ow’obuwangwa, ennono wamu n’embiri  Owek Dr. Anthony  Wamala abadde Kasangati ku mbuga y’essaza Kyadondo, naakubirizza abantu ba Buganda okuddamu okweyambisa ekyoto mu ku ssomesa abantu ku nsonga zebyobulamu, eby’obuwangwa n’ennono, empisa kwosa n’okulwanyisa obwavu mu ggwanga .

Owek.Anthony Wamala abadde Kasangati mu Kyadondo

Omwami wa Kabaka atwala essaza kyadondo Kaggo Ssalongo  Hajji Ahmed Magandazi Matovu akuutidde abavubuka obutemanyiiza bintu byabwereere wabula bamanye nti buli kintu kyakutuuyanira.

E Gomba:
Okulwanyisa omusujja gw’ensiri kussiddwako essira

Ate kumbuga y’essaza Gomba e Kanoni, minister ow’Amawulire era omwoogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kitoke asabye abantu bomutanda obutazannyisa musujja oguva kunsiri n’agamba nti ssinga abantu bettanira okuziyiza ebyo ebivaako omusujja, bajja kusobola okufissa ensimbi.

Awadde banna Gomba amagezi okukuuma empya zaabwe nga nnyonjo, obuteekumira mu nsiko n’obutakkiriza mazzi kulegama kumpi nebifo mwebasula.

Omwami wa Kabaka ow’essaza Gomba Kitunzi Mugabi Fredrick Williams anyonnyodde abantu ba Kabaka e Gomba ku mugaso gwekyooto nagamba nti Ekyooto kyakozesebwa nnyo Abaganda okugunjula abaana.

E Busiro:
Ekyoto kibaddeko olusiisira lw’eby’obulamu

Mungeri yemu nabantu ba Ssaabasajja mu Ssaza  busiro nabo betanidde Enteekateeka yekyoto nga Kyoto Ekikulu kibadde ku Mbuga ye Ssaza e Ssentema nga kino kikulembeddwamu Abavubuka .

Kawefube abaddeko olusiisira lw’ebyobulamu ngalukulembeddwamu Eddwaliro lya St.Joseph’s hospital kwosa n’ettendekero lya Maya paramedical and Nursing school era babangudde abavubuka Ku ndwadde ezenjawulo.

Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika yabadde Omugenyi Omukulu ngono akubirizza Abavubuka Okukozesa Obulungi Omulembe Ssaabasajja Kabaka gweyabakwasa kwosa nokwongera Okuwagira Obwakabaka bwabwe.

Abamu ku bayizi abetabye ku kyoto ekikumiddwa ku mbuga y’essaza Mawogola

Butambala:
Abavubuka basiimye entegeka eno, nebategeeza nti okwagala Kabaka kiri mu nnono

 Ekyoto kibadde ku mbuga y’essaza Butambala e Kabasanda, banna Butambala omubadde n’abayizi bamasomero nabo beebazizza nnyo Obwakabaka olwenteekateeka ekoleddwa.

Minister wa Ssabasajja Kabaka ow’ebyobulimi n’Obwegassi Owek. Haji Hamis Kakomo yabadde omugenyi omukulu era  asomesezza banna Butambala ku nnono z’ekyoto mu Bwakabaka.

Mungeri yeemu Owek. Hamis Kakomo akuutidde abeetabye ku kyoto ekyo okuteeka mu nkola ebyo ebibasomeseddwa era asabye bamusaayi muto okwagala ennyo Kabaka waabwe, bewale amalindirizi agagezaako okubaggya ku mulamwa.

Ekyoto ekyo kyeetabiddwako amyuka Katambala Omwaami Kabali Vincent era abakyeetabyeeko basomeseddwa kungeri y’okweetangiramu omusajja gw’ensiri nemukenenya, saako n’amasaza amalala gonna ebyoto bitambulidde mu mulamwa gwe gumu.

Abamu ku baana abetabye ku byoto by’okukuza amazaalibwa ga Kabaka age 70.

 

 

Mu ssaza Buddu:

Ekyoto kukulembeddwamu Owek Kiyimba Noah, akubirizza abaami okubeera abasaale okukuuma abaana abawala nga tebabawerebye mukenenya.

Ebyoto byetabiddwako abavubuka, abayizi b’amasomero n’abantu abakulu.

Buwalabu, Bungereza ne Ireland:
Batenderezza obuweereza bwa Beene

Ebyo nga bikyali bityo abamu ku baami ba Ssabasajja Kabaka, e Buwalabu, Bungereza ne Ireland, batenderezza obuwereza bwa Beene nebamwagaliza obuwangaazi n’okulamula Obuganda Obulungi.

Omubaka wa Ssabasajja Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Ssalongo Geoffrey Kibuuka, ne Abaasi Nsubuga Haruna, omubaka wa ssabasajja owe Buwalabu, kulwa banna Uganda mu bitundu ebyo, bagambye nti Kabaka ayolesezza Obumu mu bantube bonna.

Obwakabaka bwasalawo okutekateeka ebyoto nga 05 April,2025 ng’ ekimu ku bijaguzo by’amazaalibwa  g’Empologoma Nnyinimu Musota,  ku mbuga z’amasaza n’eggombolola  zonna ng’abantu be naddala abavubuka basomesebwa ku kawuka ka siriimu, omusujja gwensiri nendwadde endala, saako obuwangwa n’ennono, empisa n’okwemulaakulanya.#

Ebifaananyi: Tonny Ngabo

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026
  • Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde
  • Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga
  • Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya
  • Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -