Ebyoto bikumiddwa okwetoloola embuga zonna ez’amasaza n’amagombolola mu Buganda, ng’essira liteekeddwa kukusomesa abantu okutumbula eby’obulamu naddala nga balwanyisa siriimu, ng’ekimu ku bikujjuko ebyategekeddwa okujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi ogwe 70.

Ba minister ba Kabaka, abataka abakulu b’obusolya, ab’amasaza n’abakungu ambalala basiibye ku mbuga z’amasaza nga basomesa abantu ku by’obuwangwa n’ennono, eby’obulamu n’ebirala.
E Kyadondo:
Abavubuka bakubiriziddwa obutemanyiiza byabwereere
Minister wa Kabaka ow’obuwangwa, ennono wamu n’embiri Owek Dr. Anthony Wamala abadde Kasangati ku mbuga y’essaza Kyadondo, naakubirizza abantu ba Buganda okuddamu okweyambisa ekyoto mu ku ssomesa abantu ku nsonga zebyobulamu, eby’obuwangwa n’ennono, empisa kwosa n’okulwanyisa obwavu mu ggwanga .

Omwami wa Kabaka atwala essaza kyadondo Kaggo Ssalongo Hajji Ahmed Magandazi Matovu akuutidde abavubuka obutemanyiiza bintu byabwereere wabula bamanye nti buli kintu kyakutuuyanira.
E Gomba:
Okulwanyisa omusujja gw’ensiri kussiddwako essira
Ate kumbuga y’essaza Gomba e Kanoni, minister ow’Amawulire era omwoogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kitoke asabye abantu bomutanda obutazannyisa musujja oguva kunsiri n’agamba nti ssinga abantu bettanira okuziyiza ebyo ebivaako omusujja, bajja kusobola okufissa ensimbi.
Awadde banna Gomba amagezi okukuuma empya zaabwe nga nnyonjo, obuteekumira mu nsiko n’obutakkiriza mazzi kulegama kumpi nebifo mwebasula.
Omwami wa Kabaka ow’essaza Gomba Kitunzi Mugabi Fredrick Williams anyonnyodde abantu ba Kabaka e Gomba ku mugaso gwekyooto nagamba nti Ekyooto kyakozesebwa nnyo Abaganda okugunjula abaana.
E Busiro:
Ekyoto kibaddeko olusiisira lw’eby’obulamu
Mungeri yemu nabantu ba Ssaabasajja mu Ssaza busiro nabo betanidde Enteekateeka yekyoto nga Kyoto Ekikulu kibadde ku Mbuga ye Ssaza e Ssentema nga kino kikulembeddwamu Abavubuka .
Kawefube abaddeko olusiisira lw’ebyobulamu ngalukulembeddwamu Eddwaliro lya St.Joseph’s hospital kwosa n’ettendekero lya Maya paramedical and Nursing school era babangudde abavubuka Ku ndwadde ezenjawulo.
Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika yabadde Omugenyi Omukulu ngono akubirizza Abavubuka Okukozesa Obulungi Omulembe Ssaabasajja Kabaka gweyabakwasa kwosa nokwongera Okuwagira Obwakabaka bwabwe.

Butambala:
Abavubuka basiimye entegeka eno, nebategeeza nti okwagala Kabaka kiri mu nnono
Ekyoto kibadde ku mbuga y’essaza Butambala e Kabasanda, banna Butambala omubadde n’abayizi bamasomero nabo beebazizza nnyo Obwakabaka olwenteekateeka ekoleddwa.
Minister wa Ssabasajja Kabaka ow’ebyobulimi n’Obwegassi Owek. Haji Hamis Kakomo yabadde omugenyi omukulu era asomesezza banna Butambala ku nnono z’ekyoto mu Bwakabaka.
Mungeri yeemu Owek. Hamis Kakomo akuutidde abeetabye ku kyoto ekyo okuteeka mu nkola ebyo ebibasomeseddwa era asabye bamusaayi muto okwagala ennyo Kabaka waabwe, bewale amalindirizi agagezaako okubaggya ku mulamwa.
Ekyoto ekyo kyeetabiddwako amyuka Katambala Omwaami Kabali Vincent era abakyeetabyeeko basomeseddwa kungeri y’okweetangiramu omusajja gw’ensiri nemukenenya, saako n’amasaza amalala gonna ebyoto bitambulidde mu mulamwa gwe gumu.

Mu ssaza Buddu:
Ekyoto kukulembeddwamu Owek Kiyimba Noah, akubirizza abaami okubeera abasaale okukuuma abaana abawala nga tebabawerebye mukenenya.
Ebyoto byetabiddwako abavubuka, abayizi b’amasomero n’abantu abakulu.
Buwalabu, Bungereza ne Ireland:
Batenderezza obuweereza bwa Beene
Ebyo nga bikyali bityo abamu ku baami ba Ssabasajja Kabaka, e Buwalabu, Bungereza ne Ireland, batenderezza obuwereza bwa Beene nebamwagaliza obuwangaazi n’okulamula Obuganda Obulungi.
Omubaka wa Ssabasajja Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Ssalongo Geoffrey Kibuuka, ne Abaasi Nsubuga Haruna, omubaka wa ssabasajja owe Buwalabu, kulwa banna Uganda mu bitundu ebyo, bagambye nti Kabaka ayolesezza Obumu mu bantube bonna.
Obwakabaka bwasalawo okutekateeka ebyoto nga 05 April,2025 ng’ ekimu ku bijaguzo by’amazaalibwa g’Empologoma Nnyinimu Musota, ku mbuga z’amasaza n’eggombolola zonna ng’abantu be naddala abavubuka basomesebwa ku kawuka ka siriimu, omusujja gwensiri nendwadde endala, saako obuwangwa n’ennono, empisa n’okwemulaakulanya.#
Ebifaananyi: Tonny Ngabo