• Latest
  • Trending
  • All
Kabaka@70 – Omumbejja Nyakairu Rhona eyakula ne Ssaabasajja Kabaka agamba nti Kabaka okuva obuto yali wa kisa

Kabaka@70 – Omumbejja Nyakairu Rhona eyakula ne Ssaabasajja Kabaka agamba nti Kabaka okuva obuto yali wa kisa

March 11, 2025

Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka Mutebi II bwava wa Katonda – Obuganda bujaguzza emyaka 33 egy’amatikkirwage ku Watoto Church

July 31, 2026
Yogaayoga Ayi Muzzaηηoma – ku myaka 33 egy’Amatikkirwago

Yogaayoga Ayi Muzzaηηoma – ku myaka 33 egy’Amatikkirwago

July 31, 2026
Auto Draft

Buganda etongozza omwoleso gw’olubugo – abavubuka bakubiriziddwa okwettani okukomaga kulimu ensimbi

July 30, 2026

President Museveni asisinkanye bannamukago aba Bungereza – ayagala basseewo enkolagana ey’okunoonyereza ku by’obujjanjabi n’okukola eddagala

July 30, 2026

Parliament esunsudde Juma Witonze Kisekka – nga minister omuggya ow’ensonga zomunda mu ggwanga

July 30, 2026

Amakula g’amatikkirwa ga Kabaka Mutebi II aga 33 – aba Indo Africa Charitable society bawaddeyo ambulance

July 30, 2026
Obwakabaka bukoze ennoongosereza mu Kitiibwa Kya Buganda – kitukane n’ennyimba ey’ekikugu n’enjatula y’ebigambo entuufu

Obwakabaka bukoze ennoongosereza mu Kitiibwa Kya Buganda – kitukane n’ennyimba ey’ekikugu n’enjatula y’ebigambo entuufu

July 29, 2026
Dr. Kiiza Besigye atendewaliddwa naagwa mu kooti –  Government eyanjudde Omumerica agenda okumulumiriza ne banne mu musango gw’okuluka olukwe okuvuunika government

Dr. Kiiza Besigye atendewaliddwa naagwa mu kooti – Government eyanjudde Omumerica agenda okumulumiriza ne banne mu musango gw’okuluka olukwe okuvuunika government

July 29, 2026
Muwanga Kivumbi agguddwako emisango emirala ebiri – kuliko ogw’okukuma omuliro mu bantu

Muwanga Kivumbi agguddwako emisango emirala ebiri – kuliko ogw’okukuma omuliro mu bantu

July 29, 2026
Akalulu k’okulonda ba ssentebe ba L.C1 aka 2026 – soma ku mivuyo egibaddemu waliwo naabakafiiriddemu

Akalulu k’okulonda ba ssentebe ba L.C1 aka 2026 – soma ku mivuyo egibaddemu waliwo naabakafiiriddemu

July 28, 2026
Uganda tekyalimu kirwadde kya Ebola ekyali kyalangirirwa mu May,2026

Uganda tekyalimu kirwadde kya Ebola ekyali kyalangirirwa mu May,2026

July 28, 2026

Ssaabalabirizi Kazimba Mugalu atongozza kaweefube w’okunoonya ebyapa by’ettaka ly’ekanisa lyonna mu bitundu bya Rwenzori

July 27, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Kabaka@70 – Omumbejja Nyakairu Rhona eyakula ne Ssaabasajja Kabaka agamba nti Kabaka okuva obuto yali wa kisa

by Namubiru Juliet
March 11, 2025
in BUGANDA
0 0
0
Kabaka@70 – Omumbejja Nyakairu Rhona eyakula ne Ssaabasajja Kabaka agamba nti Kabaka okuva obuto yali wa kisa
0
SHARES
118
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ng’obuganda bwetegekera okujaguza emyaka 70 egya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwaleero tukuleetedde Omumbejja w’e Nkole Nyakairu Rhona, eyakula n’Omulangira Ronald Muwenda Mutebi, kaakano Kabaka wa Buganda.

Omumbejja Nyakairu Rhona akinogaanyizza nti Omulangira Mutebi yava buto nga wa kisa, wa buvunanyizibwa, nga afaayo era ng’ayagala bato banne.

Omugabe wa Ankole Kahaya baali ba mukago ne Ssekabaka Sir Edward Muteesa II, era lwakya lumu Omugabe n’akwata muwalawe ono n’amuleeta mu Lubiri e Mengo, olwo n’amukwasa Ssekabaka Muteesa n’amusaba omwana oyo amukuze.

Ekyaddirira kwe kumukwasa Namasole Sarah Kisosonkole, n’ababakuliza wamu ne n’omulangira Ronald Mutebi.

Omumbejja Nyakairu yeenyumirizza nnyo mu ky’okukulira mu Lubiri lwa Kabaka, nti baamukuza ng’omukyala Omuganda ne bamuyigiriza empisa n’okukola emirimu, nti era obuwanguzi bwonna bwatuuseeko mu bulamu omusingi gwava ku Ssekabaka Muteesa ne maama Namasole Sarah Kisosnkole.

Omumbejja yeenyumirizza nnyo mu mulangira Mutebi nti mu butoobwe baamukuza ng’omwana omulala, teyeegulumizanga yadde okukola ekitigi, kyokka ng’afaayo ku banne.

Ayozaayozezza Maasomoogi okutuuka ku kkula ery’emyaka 70, n’asaba Omutonzi amuwangaaze.

Omumbejja Nyakairu ayogedde ku kusomoozebwa kwe baayitamu ng’Olubiri luwambiddwa, neyeebaza nnyo Katonda ayambye Magulunnyondo n’amuwanguza entalo era n’awugula ebizibu akafukunya ebimujjira.

Obuganda  buli mu keeterekerero ak’okujaguza emyaka 70 egya Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Mu bikujjuko eby’omwaka guno waliwo emirimu egiwerako egigenda okukulembera entikko y’amazaalibwa nga 13 Apuli, omuli okutongoza ekizimbe ekyabbulwamu Kabaka ku ssomero lya St Peters SS Bbombo Kalule.

Mulimu okugabira abaami b’amasaza Tractor mu kaweefube ow’okusitula eby’obulimi, okwo saako ebyoto ebigenda okukumibwa ku mbuga z’amasaza n’amagombolola, kwe banaasomeseza abavubuka n’okubalambika ku nsonga ez’enjawulo.

Ebikujjuko era byakukulemberwa emisinde mubunabyalo egigenda okuddukibwa nga 6 April,2025 mu Lubiri e Mengo.

Ensimbi ezinaava mu misinde zaakweyambisibwa mu lutalo olw’okulwanyisa nnawookeera wa Mukenenya, era emijoozi egy’okuddukiramu gitundibwa shilling emitwalo 20,000/=.

Bisakiddwa: Nakato Janefer

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka Mutebi II bwava wa Katonda – Obuganda bujaguzza emyaka 33 egy’amatikkirwage ku Watoto Church
  • Yogaayoga Ayi Muzzaηηoma – ku myaka 33 egy’Amatikkirwago
  • Buganda etongozza omwoleso gw’olubugo – abavubuka bakubiriziddwa okwettani okukomaga kulimu ensimbi
  • President Museveni asisinkanye bannamukago aba Bungereza – ayagala basseewo enkolagana ey’okunoonyereza ku by’obujjanjabi n’okukola eddagala
  • Parliament esunsudde Juma Witonze Kisekka – nga minister omuggya ow’ensonga zomunda mu ggwanga

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist