Government ya Uganda etaddewo nsalessale owa nga 01 January, 2025 eri abasuubuzi bonna abayingiza eby’amaguzi mu ggwanga, okuba nga bewandiisizza mu kampuni za yinsuwa ezisaabaliza ebyamaguzi ku mazzi.
Mu nkola etuumiddwa Local Marine Cargo insurance Portal, kampuni za yinsuwa ezaakuno zakukozesa kampuni enkulu emu eya Jubilee Aliaz.
Bwabadde atongoza enkola eno ku kitebe ky’Ekitongole ekisolooza Omusolo URA e Nakawa, omutesiteesi omukulu mu ministry y’Ebyensimbi Ramathan Ggoobi ategeezezza nti okukozesa enkola ya yinsuwa y’okumazzi kigenda kukendeeza ku bbeeyi y’okusaabaza ebyamaguzi, n’okukendeeza ebbeeyi y’ebintu ebadde eremesa bannansi okubigula mu bungi.
Ssenkulu w’Ekitongole ekirungamya kampuni za Yinsuwa mu Uganda Haji Ibrahim Lubega Kaddunabbi agambye nti enkola eno egenda kuteekawo obwenkanya eri abasuubuzi, kuba buli anaaba afiiriddwa wakuliyirwa mu mateeka.
Jonan Kisaakye nga yaakulira omukago ogutaba banna Yinsuwa, ategeezezza nti Uganda ebadde efiirwa Obuwumbi n’Obuwumbi bw’Ensimbi, kyokka nga kati waliwo essuubi nti ensimbi zino zakufunibwa, zigatte ku byenfuna by’Eggwanga.
Bisakiddwa: Kato Denis