Akakiiko k’ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission, kalondeddwa okutuula ku lukiiko lw’ensi yonna olufuga obukiiko bwebyokulonda mu nsi yonna olumanyiddwa nga Executive Board of the Association of World Election Bodies (A-WEB).
Okulondebwa kw’akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda, kubadde mu lutuula olw’omukaaga olw’abakulenbeze b’obukiiko bw’ebyokulonda okwetoloola ensi yonna olwa General Assembly olutudde mu kibuga Bogota, ekya Colombia mu South America.
Abalala abalondeddwa ku kakiiko kano, kuliko aba Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) eye Kenya.
Uganda ne Kenya bebamu ku bagenda okukiikirira amawanga ga Africa ku lukiiko lwensi yonna, era bakuweereza okumala emyaka 2, era lina omukisa okufuga ekisanja ekirala kimu ssinga baweereza obulungi.
Bagenda kwegatta ku bukiiko bw’amawanga amalala 3 agayoongeddwa ekisanja ku lukiiko luno, okuli akakiiko keebyokulonda ake Libya, Sierra Leone ne Mauritius, era bano bakwekebejja n’okulondoola ebyokulonda mu mawanga agenjawulo munsi yonna, okulaba nti okulonda kuba kwamazima nabwenkanya, n’okwolesa obwerufu.

Member ku kakiiko kebyokulonda mu Uganda, Commissioner Peter James Emorut, nga yaakiikiridde akakiiko keebyokulonda mu lukungaana lwa General Assembly, yebazizza obuvunanyizibwa obubakwasiddwa era nebeeyama okutwala obuwereza obwo mu maaso.
Ekitebe ky’olukiiko olufuzi olulungamya obukiiko bw’ebyokulonda okwetoloola ensi yonna kisangibwa mu South Korea.
Olukiiko luliko ba memba 121 okuva mu mawanga 111 okuva lwekatandikibwawo mu mwaka gwa 2013.
Julius Mucunguzi ayogerera akakiiko keebyokulonda mu Uganda, agambye nti okulondebwa kwa Uganda Electoral Commission kabonero akalaga nti byebakola bisiimibwa abakulira obukiiko bwebyokulonda okwetoloola ensi yonna n’okubasaamu obwesige.
Bisakiddwa: Ddungu Davis













