Omusibe Muteesa Ismah adduse mu kaguli ka kooti y’e Kira naabuuka omulamuzi, nafumita omusirikale w’amakomera ekiso mu liiso.
Omusirikale addusiddwa mu ddwaliro lya Life link e Kira.
Omusirikale ategerekeseeko erya Ajok abadde agazaako okukwata omusibe ono, kwekumufumita ekiso, wabula tekinategeerekeka omusibe gyaggye ekiso kino.
Abasirike abalala nabo bagezezaako okumukwata nabo nagezaako okubafumita, kwekumukuba essasi ku kugulu nanafuwa nebasobola okumukwata.
Omulamuzi w’eddaala erisooka Kwagala Suzan adduse mu kooti nga talaba mabega na mu maaso, era kooti eyimiriziddwa bukubirire nabasibe nebazzibwayo mu komera.
Omusibe ono avunaanibwa omusango gw’okubbisa emmundu.
Bisakiddwa: Ssendegeya Mohammed











