• Latest
  • Trending
  • All

Emikolo gy’amatikkira ga Kabaka aga 30 – Olubiri luwuumye

July 31, 2023
Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa

May 25, 2026
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

May 25, 2026
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

May 25, 2026
Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

May 24, 2026
Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

May 24, 2026
Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

May 24, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

May 23, 2026
Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

May 23, 2026
Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

May 23, 2026
Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

May 22, 2026
Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

May 22, 2026
Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

May 21, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Emikolo gy’amatikkira ga Kabaka aga 30 – Olubiri luwuumye

by Namubiru Juliet
July 31, 2023
in BUGANDA
0 0
0
0
SHARES
331
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Ssaabasajja Kabaka Sseggwanga Ronald Muwenda Mutebi II atuuse mu lubiri e Mengo ku ssaawa musanvu ez’emisana ku mikolo egy’okujaguza bwegiweze emyaka 30 beddu ng’atudde ku Nnamulondo yaba Jjajja be alamula Obuganda.
Omutanda awerekeddwako Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ne Nnabagereka Sylivia Nagginda.
Nnyininsi asiimye n’alamusa ku mujaguzo wakati mu mizira okuva eri abantu be.
Oluvannyuma asiimye n’alambula abantu be abetabye ku mikolo gino, ng’akongojjebwa bazzukulu ba Kayiira abeddira Embogo.
Ab’embogo nga bakongojja Kabaka
Bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo babaddewo nebawonga Omutanda mu mikono gya Katonda.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere nga yakulembeddemu Okusabira Matumpaggwa Ccuucu yebazizza Omutonzi olwokukuuma Ssaabasajja nga mulamu, kyokka naalaga obutali bumativu ku mululu n’Obulyake obweyongera mu ggwanga, yadde nga buzze buvumirirwa entakera.
Empalabwa esiimye Abasenero be aba Sseruti okumuwa Empoomereze (omubisi) naanywako.
Abasennero
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga aloopedde Ssaabasajja ebibala Obwakabaka byebukungudde mu myaka 30 nga ali ku Namulondo ,omuli Ebitongole ebisiga nsimbi ,BBS terefayina CBF fm ,amasomero, amalwaliro, amatendekero agaawaggulu n’Okuyigiriza abantu ba Kabaka okulima okuvaamu ensimbi ,ekikyuysizza ebyenfuna by’abantu.
Katikkiro agambye nti wakyaliwo esuubi nti ebitanagguka naddala enfuga eya Federo nabyo bijakugguka.
Akubirizza abantu b’omutanda okwewala okwekubagiza wabula bakole n’amaanyi okwekulaakulanya.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala
Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Namwaama Augustine Kizito Mutumba yebazizza abataka okukuuma ennono z’ebika n’Okubeera abagumu naddala mu kiseera Kawenkene Obote bweyataataganya Obwakabaka, kyokka nebisigala nga bigumu.
Bajjaja abataka ab’obusolya
Omutaka Namwama asabye abantu ba Buganda abalina ebika okusigala nga banyweeredde ku nnono z’Ebika byabwe.
Omukolo guno makunale gwetabiddwako Abalangira, Abambejja, Banaalinnya, ba minister ba Ssabasajja ne ba minister mu gavumenti yawakati, abaami baamasaza, abamagbolola, ababaka ba palimenti ,bannaddiini n’ebikonge ebirala bingi.
Ba Katikkiro abaawummula okuli Mulwanyammuli Ssemwogerere, Dan Muliika ne J.B Walusimbi babaddewo.
Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala yetabye ku mukolo guno.
Abayimbi abenjawulo basanyusizza Omutanda .
Bazzukulu ba Ggunju abeddira Obutiko nga bazina amaggunju
Mesach Ssemakula ng’ayimbira Omutanda
Omuyimbi Pius Mayanja Pallaso ng’ayimbira Ssaabasajja
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Jacob Markson Oboth Oboth ye sipiika wa Parliament eye 12 – wakumyukibwa Thomas Tayebwa
  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo
  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo
  • Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966
  • Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist