• Latest
  • Trending
  • All
Parliament ya Uganda ezzeemu okuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga – ababaka 341 baliwagidde

Parliament eyisizza omusolo omupya ku mikutu gyókumutimbagano ne ku pampa

May 4, 2023
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo

May 25, 2026
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo

May 25, 2026
Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966

May 24, 2026
Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna

May 24, 2026
Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

May 24, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

Ssaabasajja Kabaka asiimye enteekateeka ya Ttabamiruka wa Buganda bumu ayindira mu Germany

May 23, 2026
Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

Ababaka 19 beebesowoddeyo okusaba kaadi ya NRM – okuvuganya ku kifo kya Sipiika wa parliament eye 12 n’omumyuka we

May 23, 2026
Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

Katikkiro Mayiga akyaddeko ku kitebe kya Uganda mu Germany – abasabye okwongera okutunda eby’obuwangwa ku lukalala lw’ebyobulambuzi awamu n’okugaziya akatale k’emmwanyi za Uganda

May 23, 2026
Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

Government ya Uganda erangiridde nti ebbeeyi y’amafuta eyolekedde okweyongera okulinnya – agayingira eggwanga gafuuse ga buseere

May 22, 2026
Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

Ekitundu ky’oluguudo oluyita ku lutindo lwa Katonga kiggaddwa okumala ennaku 3 – abali ku bwangu abamu kati bayita Ssembabule-Gomba

May 22, 2026
Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

Aba NUP bawangudde ekifo kya Sipiika n’eky’Omumyuka wa KCCA ku kisanja ekya 2026-2031

May 21, 2026
Government ya Uganda eyimirizzaamu ennyonyi eziva mu DRC, awamu n’ebidduka ebirala okuyingira Uganda okutaangira ekirwadde kya Ebola

Government ya Uganda eyimirizzaamu ennyonyi eziva mu DRC, awamu n’ebidduka ebirala okuyingira Uganda okutaangira ekirwadde kya Ebola

May 21, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Business

Parliament eyisizza omusolo omupya ku mikutu gyókumutimbagano ne ku pampa

by Namubiru Juliet
May 4, 2023
in Business
0 0
0
Parliament ya Uganda ezzeemu okuyisa etteeka erirwanyisa ebisiyaga – ababaka 341 baliwagidde
0
SHARES
665
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Parlaiment etaddewo  omusolo gwa value added Tax ku  kampuni engwira zonna  ezokumutimbagano bannayuganda zebalinako ebibanja.
Kampuni ezinokoddwayo eziteereddwako omusolo guno ,kuliko Ali express, E-Bay, Amozon, Netflix, Facebook, Twitter ne google.
Kampuni zino okusinziira ku tteeka eriyisiddwa erya Value Added Tax ,government egamba nti zikolebwako ebintu bingi okuli ekuyisaako obubaka bw’ebyobufuzi, obubaka obukwata ku byobuwangwa n’ennono, okutundirako eby’amaguzi ,okulangirako, okutundirako FILM, emizannyo, nokutegekerako ebivvulu by’ennyimba, okusomerako n’ebirala.
Wabula parliament esazeewo nti abakozesa emitimbagano gino okussoma bbo balekebwe ebbali baleme kusasulirako mukolo.
Omusolo guno okuteereddwa ku kampuni zino, gubaddeko okusika omuguwa okuva mu babaka abénjawulo.
Omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga Kivumbi era minister w’ebyensimbi ku ludda oluvuganya government alabudde nti okuteeka omusolo gwa VAT ku mitimbagano naddala abakolerako ebyobufuzi ,ebyobuwangwa bwabwe nebirala kandibeera akakodyo kokuziba bannayuganda emimwa
Wabula minister omubeezi owebyensimbi Amos Lugoloobi, abuulidde parliament nti tekinologiya gyeyeyongera okukula,government nayo erina okwongera amaanyi mu kufuna amakubo omuva omusolo, naagamba nti omusolo guno kampuni zino ziggya kugusasula.
Minister Lugoloobi bwabuuziddwa engeri gavument gyegenda okukungaanyamu omusolo guno ku kampuni engwiira ezitali zakuno, agambye nti ekitongole ki URA kirina obusobozi okukungaanya omusolo guno.
Parliament era esazeewo nti pampa z’abaana awamu n’abantu abakulu ezisinga okukozesebwa abalwadde nábakadde ziteekebweko omusolo.
Government mu nnongosereza mu tteeka lino erya Value Added Tax , yali eyagala pampa (diapers) z’abantu abakulu naddala abakuzeeko mu myaka  zisonyiyibwe omusolo olwensonga zebyobulamu.
Alipoota y’akakiiko ka parliament akalondoola eby’ensimbi akabadde kekeneenya ennongosereza mu tteeka lino erya Value Added Tax eyanjuddwa omumyuka wa ssentebbe waako Jane Pachuto, ebadde esembye  nti pampa zábakulu zisonyiyibwe omusolo.
Alipoota y’ababaka abatono essomeddwa omubaka wa Butambala Mohammed Muwanga esabye parliament nti bwekiba  kyakusoonyiwa musolo ku pampa, ezabakulu nezabato zonna zisonyiyibwe oba bweziba zakuteekebwako omusolo zonna ziteekebweko omusolo.
Wano omubaka omukyala owe Butambala Aisha Kabanda wasinzidde náwagira nti ne pampa zábakulu zigendeko omusolo nti kubanga zisinga kukozesebwa abasajja abenyigira mu muze gwómukwano ogwébikukujju.
Gyebigweredde nga parliament esazeewo nti pampa zonna ezabato n’abakulu ziteekebweko omusolo.
Mu mbeera yeemu, Sipiika wa palament Anita Among atabukidde akakiiko ka parliament ak’ebyensimbi akabadde kekeneenya ennongosereza ku byemisolo ,bwakizudde nti kaliko omusolo gwekabadde kakusiza mu tteeka lya excise duty nga guteekeddwa ku nsimbi eziteekebwa nokuggya mu bank oba ebitongole byensimbi ebirala okuyita mu nkola ya tekinologiya.
Alipoota y’akakiiko ka parliament kano essomeddwa amyuka ssentebe waako Jane Pachuto  kabadde katadde omusolo gwa bitundu 0.5% ku buli muwendo gw’ensimbi omuntu zagya mu bank okuyita mu nkola ya tekinologiya.
Wabula sipiika Anita Among akizudde nti mu bbago ly’etteeka government lyeyanjula mu parliament , omusolo guno tegwalimu kwekubuuza amyuka ssentebe w’akakiiko kano Jane Pachuto gyeyaggye ennongosereza ennongoosereza eno.
Jane Pachuto mukwenyonyolako, agambye nti minister webyensimbi yayatwala eri akakiiko Kano ennongosereza eno, bweyaali anyonyola ku nnongosereza mu tteeka lino erya excise duty.
Anita Among asinzidde ku ku kunyonyola kuno, naalagira akakiiko omusolo guno gusiimuulwemu.
Anita Among akizudde nti era  akakiiko kano tekaakola kwebuuza ku musolo guno ku bitongole ebikwatibwako ,okuli Uganda bankers association, bank enkulu n’ebirala.
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka alagidde abantube okwongera okutema empeza eziyimirizaawo ekitongole kya Kabaka Foundation – abe California bajaguzza emyaka 30 bukyanga kitandikibwawo
  • Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park – mubaddemu abakozi b’ekitongole ky’emisolo
  • Giweze emyaka 60 okuva olubiri lwa Kabaka e Mengo lulumbibwa nga 24 May, 1966
  • Arsenal the Gunners ekwasiddwa ekikopo kya Bungereza 2025/2026 – abawagizi baayo babinuka okwetoloola ensi yonna
  • Engabi Ensamba Bannantameggwa b’empaka z’ebika by’Abaganda eza 2025 bawanduse ku kikopo kya 2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist