Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’atemye evvuunike ly’okutandika okuzimba eddwaliro lino ku mbuga y’egombolola y’e Busimbi mu ssaza Ssingo.
Eddwaliro Obwakabaka bwerigenda okuzimba lyakubeera ku mutendera gwa health center IV.
Ligenda kubbulwamu Kabaka Edward Muteesa II.
Amalwaliro ekika kye kimu era gasuubirwa okuzimbibwa e Mukungwe mu Buddu, ne Nyenga mu Kyaggwe.
Katikkiro era asimbye omuti ogw’ekijjukizo mu kitundu ewagenda okuzimbibwa eddwaliro.
Kamalabyonna akuutidde abantu ba Buganda okunyiikira okukola obutaweera okusobola okwetusaako ebyetaago by’obulamu obwa bulijjo.
Katikkiro awadde government amagezi okusoosowaza ensonga y’okuteeka ebikozesebwa mubmalwaliro ate nookufuba okusasula abasawo, ebyobulamu bwebiba byakuterezebwa.
Omulabirizi we Mityana Kitaffe mu Katonda James Bukomeko Ssalongo, asabye banna Singo okuwagira omulimu guno era neyebazza ssabasajja olwokubawa eddwaliro lino.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Singo David Nantajja asabye banna Singo okuwagira omulimu gw’eddwaliro lino lyagambye nti legenda kuyamba okutumbula ebyobulamu.
Atwala ebyobulamu mu District ye Mityana Viccent Kawooya, ategeezezza nti eddwaliro lino legenda kuyambako okutumbula ebyobulamu mu Mityana.
Alaze okusoomozebwa kw’obulwadde bwa mukenenya obuva ku ba maama nebabusiiga ba nnyabwe, nga kiva ku bakyaala abeyunira okuzaalira mu ba mulerwa.
Patrick Mugisha Nshiimye nga ssentebe wa District Ye Mityana ategeezezza nti babadde basomoozebwa mubyobulamu nga eddwaliro lya Mityana lyokka lyebalina lirimu omujjuzo mungi.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen ne James Kaana Ssebuguzi