• Latest
  • Trending
  • All
Parliament eragidde government esazeemu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne kampuni ya Vinci – ensimbi eziwe abasuubuzi bannansi bongere omutindo ku mmwanyi

Parliament eragidde government esazeemu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne kampuni ya Vinci – ensimbi eziwe abasuubuzi bannansi bongere omutindo ku mmwanyi

May 19, 2022
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

May 14, 2025
Abakozi ba CBS  bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

Abakozi ba CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Business

Parliament eragidde government esazeemu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne kampuni ya Vinci – ensimbi eziwe abasuubuzi bannansi bongere omutindo ku mmwanyi

by Namubiru Juliet
May 19, 2022
in Business
0 0
0
Parliament eragidde government esazeemu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne kampuni ya Vinci – ensimbi eziwe abasuubuzi bannansi bongere omutindo ku mmwanyi
0
SHARES
71
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Kyaddaaki alipoota ekwata ku mmwanyi eyavudde mukwekenenya endagaano government gyeyakola ne Vinci Coffee Company Ltd eya musiga nsimbi omukyala omu Italy Enrica Pineti, eyanjuddwa mu parliament ng’esemba endagaano eno esazibwemu.

Ababaka bagikubaganyizaako ebirowoozo mu kiro.

Alipoota eno esomeddwa ssentebbe w’akakiiko  akavunaanyizibwa ku by’obusuubuzi Mwiine Mpaka, enokoddeyo ensobi ne vvulugu eyakolebwa mu kuteeka omukono ku ndagaano eno.

Akakiiko kalambise nti endagaano eno esaanye
esazibwemu  mu bbanga lyamyezi esatu,okuva alipoota eno lwessomeddwa mu parliament.

Alipoota eno ekinogaanyizza nti minister webyensimbi Matia Kasaija okwewa obuyinza okusonyiwa kampuni eno emisolo kyali kikyamu, era nga kimenya amateeka ,nti kubanga obuyinza buno bwa parliament.

Kanyonyodde nti okuwa kampuni Eno obuyinza okugula emmwaanyi nookugereka emiwendo gyazo nakyo kimenya amateeka g’eggwanga lino.

Akakiiiko Kano era kalumiriza abakulu mu government eno okuli minister Matia Kasaija,  Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka nabakulu mu kitongole ekivunanyizibwa ku bamusiga nsimbi, okulemererwa okukola emirimu gyabwe ,government neteeka omukono ku ndagaano efanaana bweti.

Alipoota ekinogaanyiza nti kampuni eno eya Vinci okuweebwa contract ,tewaali kunonyereza kwonna kwakolebwa nti yalina obusobozi okukola omulimu guno.

Kasabye nti abakulu bonna abetaba  mu kukola endagaano eno bakangavvulwe.

Alipoota eraze nti kampuni ya Vinci coffee company ltd terina nsimbi ezokuzimba kampuni ekola kaawa, so ngeera terina bumanyirivu bwonna mu mulimu gwe mmwanyi.

Mu ngeri yeemu endagaano eno terina kiseera  kyassalira kirambika  ekkolero eryo weririn okumalirizibwa, n’ ebibonerezo singa kampuni ya VINCI eneremererwa okuzimba ekkolero.

Abalimi bemmqanyi tebebuuzibwako nga endagaano eno ekolebwa, ekirinyirira eddembe lyabwe.

Akakiiko kakizudde nti singa gavumenti egenda mu maaso ne ndagaano eno kijja kuba kizibu omuntu yenna oba kampuni endala okuweebwa license okusuubula emwaanyi.

Ababaka basembye nti kampuni zakuno ezikola kaawa nazo ziweebwe omukisa,  ate era governmenf ezikwatizeeko zenyigire mu kwongera omutindo ku mmwaanyi.

Egiragidde nti bweba eyagala okukolagana ne musiga nsimbi ono erina okuddamu okuteseganya naye buto, nga egoberedde amateeka.

Omubaka Mwiine Mpaka era Ssentebe w’akakiiko ka parliament akalondoola ebyobusuubuzi
Mu ngeri yeemu omubaka Mwine Mpaka atangazizza ku nsisinkano gyebalimu nga ababaka ku kakiiko kano ne president Museveni, nagamba nti  president naye yabasaba endagaano eno eddemu yekenenyezebwe nti kuba ensobi nyingi ezaakolebwa.

Sipiika wa parliament Anita Among agambye nti ensonga ya president tesanidde kubuusibwa maaso, era nayo yakutunuulirwa.

Kyoka omubaka wa Budadiri west Nathan Nandala Mafabi agambye nti buli president Museven kyeyali asabye kirambikiddwa mu alipoota.

Omubaka wa Bukomansimbi South Godfrey Kayemba Solo omu ku babaka abaakoze alipoota eno agambye nti bagala parliament eyise alipoota eno nga bweeri , ebyenfuna byabannansi ebiyimiriddewo ku mwaanyi bireme kulinnyirirwa mu nkola eyefaananyiriza ey’okuzannya zzaala.

Parliament emalirizza eragidde government endagaano esazibwemu  yonna, olwo oluvannyuma lw’emyezi mukaaga ekomewo etegeeze parliament ebinaaba bituukiddwako.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala
  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga
  • Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce
  • Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -