Police mu district ye Rukiga ekutte abantu 8 ku bigambibwa nti baamenye sitoowa omwabadde ebintu ebikozesebwa mu kutambuza amasanyalaze okuva mu district ye Ntungamo okuyita mu district ye Rukiga ne Karukara, okutuuka mu district ye Rubanda ebibaririrwa obuwumbi nobuwumbi bwénsimbi.
Ebigambibwa okubbibwa mulimu ensawo za cement emitayimbwa nébirala.
Abakwate kuliko Moreen Nuwamanya mutuuze ku kyalo Mutambuka municipali ye Kabale, Beatrice Tushemerirwe mutuuze mu town council ya Muhanga ,Ramadan Nuwamanya agambibwa okugula ebintu ebyo,Amanyire Apollo omusomesa saako abalala 4 ababadde bazze okupakaasa .
Kitegerekese nti kampuni yaba China eya CGTSCC yeyawebwa obuvunanyizibwa okutambuza waaya z’amasanyalaze okuva mu district ye Ntungamo okugenda mu district ye Karukara okutuuka e Rubanda , sso nga era bakuzitambuza okuyita e Bukinda mu district ye Rukiga gyebabadde basimbye amakanda, era ng’ebikozesebwa byonna byabadde bireeteddwa okutandiika omulimu mu butongole.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Elly Maate agambye nti omukuumi eyatekebwa ku sitoowa okugikuuma yavaawo nga tayogedde gyeyalaga, eranga néssimu ze bazikuba tazaanukula.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru