Ddiifiri munnauganda omu yekka era nga muwuubi wakitambala Ronald Katenya, yaalondeddwa okulamula mu mpaka z’emizannyo eza All Africa Games ez’omwaka guno 2024.
Emizannyo gino gigenda kutandika nga 08 March okutuuka nga 24, 2024 era gigenda kuzannyibwa mu bibuga 3 okuli Accra, Kumasi ne Cape Coast e Ghana.
Ronald Katenya nga mukugu mu byamasanyalaze, yoomu ku baddfifiri 48 abalondedwa okulamula mu mpaka zino.
Katenya yafuna badge ya FIFA mu mwaka gwa 2014.
Alamuddeko mu mpaka za CAF Champions League, CAF Confederations Cup, AFCON qualifiers, World Cup qualifiers n’endala.
Ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere eyabalenzi abatasusa myaka 20 eya Uganda Hippos yeemu kuzigenda okwetaba mu mpaka zino, nga eri mu kibinja B ne Nigeria, Senegal, Tunisia ne South Sudan.
Ate ne ttiimu yabawala abatasusa myaka 20 eya Queen Cranes nayo egenda kuvuganya mu mpaka zino era eri mu kibinja A nabategesi aba Ghana, Ethiopia ne Tanzania.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe