Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Rugby eya Uganda Rugby Sevens eteereddwa mu kibinja C mu mpaka z’ensi yonna eza HSBC World Rugby Sevens Challenger Series ez’omutendera ogw’okubiri.
Omutendera guno ogw’okubiri gugenda kubeera mu kibuga Montevideo ekya Uruguay okuva nga 8 okutuuka nga 10 March 2024.
Mu kibuga C Uganda Rugby Sevens erimu n’abategesi aba Uruguay, Germany ne Papau New Guinea.
Mu kibinja A mulimu Kenya, Tonga, Georgia ne Portugal, mu kibinja B mulimu Chile , Japan, Hong Kong ne Mexico.
Mungeri yeemu ttiimu y’abakazi eya Rugby, eteereddwa mu kibinja C era mu mpaka zino ne Thailand, Argentina ne Mexico.
Mu kibinja A mutereddwamu China, Poland, Czech Republic ne Paragua.
Mu kibinja B mulimu Kenya, Belgium, Papau New Guinea ne Hong Kong.
Omutendera ogusooka ogw’empaka zino gwabaddewo kuntandikwa y’omwaka guno 2024 e Dubai ate nga omutendera ogw’okusatu gujja kubeera mu kibuga Munich ekya Germany.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe