Abakiise mu lukiiko olufuzi olwékibiina kya Forum for Democratic Change bayisizza ekiwandiiko ekiyimiriza okulonda kwékibiina kino okwetoloola eggwanga lyonna, okutuusa nga batudde ku meeza nebamalawo ebizibu ebiri mu kibiina.
Mu lukungaana lwabanna mawulire lwebatuuzizza ku Fairway Hotel mu kibuga Kampala abakiise bano bagamba nti bakooye okufuuka ekisekererwa ng’ekibiina kisaanawo.
Ekiwandiiko kisomeddwa Nampala wa FDC mu parliament nga kiteereddwako emikono egiwerako.
Kuliko ogw’amyuka president wa FDC mu bitundu bya Busoga Salaam Musumba,Ssalongo Erias Lukwago atwala ekitundu kya Buganda,Okello Ojala atwala ebitundu by’obukiika kkono ,Roland Kajinda atwala ebitundu bye Kasese,Altkins Katushabe n’abalala bangi.
Ibrahim Ssemujju Nganda asomye ekiwandiiko kino kulwabane agambye nti tebanekutulako ku kibiina wabula bagala ekibiina kirongooke nga tekitambulizibwa mu nkwawa zábantu sekinoomu
Era mu kiwandiiko kino balajidde ne banna kibiina kya FDC abakirumirirwa nti tebenyigira mu kulonda kwona okutuusa nga ekibiina kiteredde
Mungeri yemu mu kiwandiiko kino abakulembeze békibiina kino bagala nákakiiko k’ebyokulonda kayiibwe konna nti kubanga kati kaawambibwa waliwo akatambuliza ku ntoli.
Era bagala president Patrick Amuriat ne ssaabawandiisi wékibiina Nathan Nandala Mafaabi baddeko ebbali, olwo ekiseera ky’akalulu bwekinaatuuka bakomewo bavuganye ku bifo byebegwanyiza.
Salaamu Musumba,Erias Lukwago,Francis Mwezukye ,Altkins Katushebe,Doreen Nyanjula nabalala baweze nti bagenda kutalaaga eggwanga lyonna nga bategeeza banna kibiina nnabe eyabagwiira atabasobozesa kulonda.
Bino bijidde mu kiseera ng’akakiiko akaali kaatondebwawo mu kibiina okunoonyereza ku vvulugu kakkiriza nti okulonda kugende mu maaso ,wadde nga banna kibiina bangi banoonya wali okulonda gyekuli tebakulaba.
Patrick Amuriat ne Nathan Nandala Mafaabi, abamu ku bakulembeze b’ekibiina babalumiriza okubeera mu lukwe lw’okwagala okutunda ekibiina kyabwe mu NRM.
Bagamba nti ne mu kalulu ka 2021 NRM yawa Amuriat ensimbi okuvuganya ku bwa president bw’eggwanga.
Bisakiddwa : Lukenge sharif