Police e Lugazi mu district ye Buikwe ekutte omuvubuka agambibwa nti abadde atemula abantu mu makubo n’abanyagako ebintu byabwe, saako okumenya amayumba n’amaduuka.
Omukwatte ye Kyaliza Junior kyoka nga amanyiddwannyo nga A.K.A DdigaDdiga nga ono kigambibwa nti alina ekibinja ky’akulira mu Lugazi ekisiibya wamu n’okusuza bann Lugazi nga bakukunadde.

Omwogezi wa Police mu kitundu kya Ssezibwa Helen Butoto ategezeza nti omuvubuka ono abadde n’emisango mingi egizze giroopebwa ku police wabula ng’abadde amaze ekiseera nga yekukumye.
Waliwo n’omukazi alumiriza Ddigaddiga okugezaako okumutta, era alaze n’ekiwundu kyeyamutusaako mu bulago bweyamusala ekyambe.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis