
Waliwo omulamazi asaangiddwa ng’afiiridde e Namugongo, ku kiggwa ky’abakristaayo e Nakiyanja.
Afudde ye Jackline Arinaitwe wa myaka 49, yavudde ku kyalo Katokori mu ggombolola ye Katanda mu district Rubiriizi mu bulabirizi bwa West Ankole.
Omukyala ono abadde mu kibinja ky’abalamazi 103 ekyakulembeddwamu Rtd. Rev.Benard Mujuni, okuva mu bulabirizi bwa West Ankole.
Abamu ku balamazi beyataambudde nabo bategezezza nti bwebatuuse e Namugongo nebagenda mu kifo gyebewandiisiza, olwo nebalyoka bafuna ekifo webawummulira.
Bagamba nti munnabwe balabiddewo awo ng’embeera gyalimu sinnungi,bagenze okumukwatako nga yakaze dda.
Rtd Rev Mujuni eyabakulembeddemu agamba nti baatambudde okumala ennaku 10 era bonna babadde mu mbeera nnungi ng’oggyeko obukoowu.
Bateebereza nti yandiba ng’abadde alina ekizibu ky’entunnunsi.
Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago, okwongera okwekebejjebwa okuzuula ekituufu ekisse omugenzi.
Ankole diocese bebamu ku baateesiteesi b’emikolo by’omwaka guno.
Bisakiddwa: Davis Ddungu