Olukiiko oluddukanya emipiira egy’ebika by’a Baganda lukutte obululu bw’ebibinja obw’empaka z’omwaka guno, ebika 48 bye bikakasiddwa okwetaba mu mpaka zino ku bika 52.
Empaka zino zigenda kutongozebwa ku lw’okubiri lwa wiiki ejja nga 31 mu Bulange, era Katikkiro ku mukolo kwasuubirwa okubuulira Obuganda emipiira gino lwe ginaggulwawo.
Mu kibinja A mutereddwamu Empindi, Obutiko, Omusu, Akasimba, Ekiwere ne Olukato.
Mu kibinja B mulimu Enkima, Abalangira, Entalaganya, Emmamba Kakoboza, Ekinyomo ne Envuma.
Mu kibinja C muteredwamu Effumbe, Enkerebwe, Omutima Omusagi, Enkula, Ennyonyi Endiisa ne Ndiga.
Mu kibinja D mulimu Ensenene, Emmamba Ggabunga, Engonge, Engabi Ensamba, Amazzi g’Ekisasi ne Akasanke.
Mu kibinja E mulimu Embogo, Enjovu, Enjobe, Envubu, Enkejje ne Ngabi Ennyunga.
Mu kibinja F mulimu Ennyonyi Nakinsige, Empeewo, Olugave, Ngali, Ekibe ne Omutima Omuyanja.
Mu kibinja G mulimu Ente, Enkusu, Enjaza, Ensuma, Embwa ne Nnyonnyi Ennyange.
Mu kibinja H mulimu Ekkobe, Engo, Engeye, Namungona, Empologoma ne Akayozi.
Buli kibinja kigenda kuvamu ttiimu 2 okugenda ku mutendera gwa ttiimu 16.
Emipiira gy’ebika bibadde gimaze emyaka 2 nga tejizannyibwa olwa covid 19.
Ekika ky’embogo kyekyasemba okuwangula empaka zino mu 2019 yakuba e kkobe goolo 1 – 0 mu kisaawe kya Masaka Recreation Grounds eyatebwa Nelson Ssenkatuuka.
Ekika kye Nyonyi Enyange kye kyawangula empaka z’okubaka bwe bakuba bazukkulu ba Gabunga obugoba 20 – 19.
Emmamba Gabunga yesinga okuba n’ebikopo ebingi okuva mu 1950.
1950: Mbogo
1951: Ngabi Nsamba
1952: Mmamba Gabunga
1953: tekyategekebwa
1954: tekyategekebwa
1955: Kkobe
1956: Mmamba Gabunga
1957: Nyonyi Nyange
1958: Ngeye
1959: Mmamba Gabunga
1960: Ffumbe
1961: Bbalangira
1962: Nkima
1963: tezaategekebwa
1964: Mmamba Gabunga
1965: Mmamba Gabunga
1987: Ngabi Nsamba
1988: Lugave
1989: Mmamba Gabunga
1990: Lugave
1991: Ngeye
1992: Ngeye
1993: Nkima
1994: Mmamba Gabunga
1995: Lugave
1996: Mpindi
1997: Nnyonyi
1998: Lugave
1999: Lugave
2000: Mpologoma
2001: Ngo
2002: Mpologoma
2003: Mmamba Gabunga
2004:Lugave
2005: Ffumbe
2006: Mpindi
2007: Ngabi Nsamba
2008: Kkobe
2009: Ffumbe
2010: Nte
2011: Mmamba Gabunga
2012: Ngeye
2013: Ngabi Nsamba
2014: Mmamba Gabunga
2015: Mbogo
2016: Nte
2017: Nte
2018: Nkima
2019: Mbogo
Bisakiddwa:Issa Kimbugwe