Kampeyini zookujjukizo ekifo ky’omubaka wa parliament owa Omoro zikomekerezeddwa olwaleero mu butongole.
Okulonda kuno kwakubaawo ku lwokuna lwa wiiki eno nga 26 May, 2022,okujjuza ekifo ekyalimu sipiika wa parliament Jacob Oulanya eyaffa gyebuvuddeko.
Olunaku lwonna president Museven asiibye eyo ng’anoonyeza munnaNRM Andrew Ajok Oulanyah akalulu.
Alambuddeko ku jajja wa Ojok era kitaawe w’omugenzi Jacob Oulanyah eyali sipiika wa parliament.
President Museven abategezezza nti abadde tamanyi nti mu kitundu kye Omoro tewali nguudo za kolaasi, nabasuubiza nti agenda kuzikolako mangu ddala.
Mu ngeri yeemu, Ab’oludda oluvuganya government bemulugunya olwamaggye amayitiruvu agayiiriddwa mu district ye Omoro, bagamba nti gagendereddwaamu okutiisatiisa abalonzi.
Akulira oludda oluvuganya owek Mathias Mpuuga Nsamba amakanda naye agasimbye mu district eyo ,gyasiibye nababaka bannaNUP abawerako okunoonyeza munnaNUP Simon Toolit Akecha akalulu.
Mpuuga yewuunyiza engeri NRM ebadde mu buyinza emyaka egisoba mu 35 kyekyayinza okusuubiza bannansi nti bagyongere obuyinza ekole ku bizibu byabwe.
Abavuganya mu kalulu ke Omoro kuliko Odongo Terence atalina kibiiina kwajidde, Onen Jimmy Walter naye talina kibiina,Toliit Simon wa NUP, Andrew Ojok Oulanyah owa NRM, Kizza Oscar wa ANT, FDC ereese Justin Odongo.