Uganda eweerezza ttiimu yaabazannyi 42 egenda okuvuganya mu mizannyo 5, mu mpaka ISF World School zaGames ezigenda okubeera e France okuva nga 14 -24 omwezi guno ogwa May 2022.
Uganda egenda kuvuganya mu mizannyo okuli emisinde, okuwuga, ensero, badminton ne Table Tennis.
Omuzannyo gw’emisinde gwe gusinze okutwala ttiimu y’abazannyi abangi bali 16,abawala 8 n’abalenzi 8.
Omuzannyo gw’okuwuga gulina ttiimu y’abawuzi 8.
omuzannyo gwa Table Tennis gulina ttiimu y’abazannyi 6 ne Badminton abazannyi 4.
Ttiimu y’ensero eriko abazannyi 8 okuli abalenzi 4 Mathew Kisakye owa Kibuli Secondary School, Ethan Bulenzi owa Eureke School, Emmanuel Junior Omara owa Hope Secondary School Nakirebe ne Shane Favor Siima Birungi owa Kampala International School.
Abawala 4 kuliko Sarah Namale ne Mariam Patience Karungi aba Nabisunsa Girls School, Sheila Aber Lamunu owa Buddo SS ne Darlene Elsa Murungi Tashobya owa Vine International.
Ekibinja kino kisitudde ku ssaawa mwenda ez’olweggulo okugenda e France, bakulembeddwamu omumyuka wa president wa FUFA Justus Mugisha.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe