Omukulembeze w’ekisinde kya People’s Front For Transition era eyaliko president wa FDC Rtd Col Kizza Besigye akwatiddwa abasirikale ba police nazzibwa mu maka ge e Kasangati, abadde agezaako okwekalakaasa ng’atambuza ebigere.
Besigye abadde atambula agenda mu kampala okujjukiza abantu okuteeka akazito ku government, ebeeko kyekola ekendeeze ku miwendo gy’ebbeyi y’ebintu.
Besigye agambye nti waddenga bamulemesezza okutambula olwaleero ,tekitegeeza nti aweddemu amaanyi, agambye nti n’olunaku lw’enkya olwa friday wakomye wagenda okutandikira.
Besigye agambye nti era agenda kuteeka akazito ku government okutuusa ng’esaze ku muwendo gw’aba minister, nti kubanga bebasinga okusaasanyizibwako ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Besigye abadde attukiza enkola eyefaananyirizaako eya walk to work, gyeyatandika mu 2011.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge