Empaka z’emmotoka eza Pearl of Africa Rally Championships ez’omwaka guno 2022, zigiddwako akawuuwo olwaleero luno mu bitundu bye Mukono ne Lugazi.
Empaka zino zigenda kuvugibwa okumala ennaku ssatu okutuuka ku Sunday eno nga 8, wabula ngéza leero ziyindira mu Muzuli Africa e Namataba.
Emmotoka 46 zezaakakasiddwa okuzetabamu era zonna zaakebereddwa nga ziri mu mbeera nnungi, ku Shell Namanve.
Abavuzi bonna bagenda kutolontoka olugenda lwa kilo meter 442, abawagizi bakuzirengerera mu bitundu okuli Nakapinyi, Mbalala, Nakiwunga ne Kivuvu.
Okisinzira ku mwogezi we kibiina kya FMU Frank Serugo, essira balitadde nnyo ku kukuuma obulamu bwábavuzi nábawagizi bémmotoka zémpaka.
Ku bavuzi 46 abagenda okuvuganya, Uganda erinako abavuzi 38 okuli Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu, Ronald Ssebuguzi, Jas Mangat, Hassan Alwi, Yassin Nasser, Arthur Blick Junior, Duncan Mubiru Kikankane.
Abalala abavuzi bavudde Zambia, Rwanda, Burundi ne Kenya.
Abavuzi bonna mu mpaka zino balwana kuku𝝶anya obubonero obunabasobozesa okuwangula engule ya Africa.
Mungeri yeemu empaka zino zigenda kubeera za mwetololo gwa kuna ku calender ya National Rally Championships, nga empaka ezasooka ez’emirundi 2 Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu yeyaziwangula.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe