Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu Uganda ekya Uganda Netball Federation, kitongoza empaka z’okubaka eza East Africa Club Netball Championships ez’omwaka guno 2022.
Zitongozeddwa Francis Banya akulira eby’emirimu mu Uganda Netball Federation ku kitebe kyabwe ku Aghan Old Kampala.
Empaka zino zigenda kuberawo okuva nga 8- 15 may 2022,ku kisaawe kya Kamwokya Community Sports Center ne Lugogo Indoor Stadium.
Francis Banya agambye nti Uganda egenda kweyambisa empaka zino okuteekateeka ttiimu egenda okugikiikirira Uganda mu mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza mu July 2022.
Uganda mu mpaka zino eza East Africa Club Netball Championships egenda kukiikirirwa club 6 okuli ez’abakazi 4 nabasajja 2. Ezabakazi kuliko okuli NIC, Prisons, KCCA ne UPDF ate nga ez’abasajja kuliko Kampala University ne WOB.
Club endala ezigenda okuvuganya mu mpaka zino kuliko eziva e Tanzania, Zanzibar ne Kenya.
Tiimu za Tanzania ezábakazi kuliko JKT Mbweni,Uhamiagi,
Tamisemi, Ate ezábasajja kuliko Muungano
ne Arusha Jiji.
Tiimu za Zanzibar ezábakazi kuliko JKU, KVZ, ate eyábasajja ye JKU.
Kenya yakukiikirirwa eyábakazi eya Prison NC neyabasajja Prisons NC.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe