Bya Ddungu Davis
Ministry y’eby’enjigiriza eragidde amatendekero agasomesa abasawo, abajanjabi, abazaalisa, abakebera endwadde mu laboratory, nabatabula eddagala, obutaddamu kuwandiisa bayizi abataweza myaka 18, mu matendekero ago.
Ministry y’ebyenjigiriza egamba nti okuwandiisa abayizi abatanaweza myaka 18, baba bakyali bato okukola emirimu gyekisawo, ssonga naabamu baba tebanaba kwetuuka kusisinkana kusoomoza kuli mu bukugu buno.
Mu mbeera yeemu ministry y’ebyenjigiriza egamba nti kino kiviiriddeko abayizi okufulumizibwa mu matendekero nga bakyali mu myaka emito, nebatuuka embeera nebalemesa okukola, obulungi nebalabika nti baakiboggwe.
“Waliwo nókusoomoza kwábalwadde abamu naddala abakyala abazaala, abatya okugenda mu malwaliro okuzaalirayo, ngábazaalisa abaliyo bato batya okubalaga obwereere bwabwe.” (Bya editor)
Dr. Musene Safiinah Kisu, kaminsona mu ministry y’eby’enjigiriza avunanyizibwa ku matendekero agasomesa ab’eby’obulamu, asinzidde ku Uganda Media Center mu Kampala, n’agamba nti ministry tegenda kuddamu kukkiriza matendekero kusomesa baana batatuukanye na myaka jino.
Dr. Musene mu ngeri yeemu alangiridde enteekateeka ya ministry y’eby’enjgiriza ,ey’okuddamu okubangula abasomesa mu matendekero g’ebyekisawo olugenda okubaawo okuva nga 27 okutuusa nga 30 April,2022.
Omusomo guno gukwata ku mateeka agalina okugobererwa mu okufulumya abasawo abatuukiridde.
Mu ngeri yeemu Rose Nassali ssentebe w’ekibiina ekitaba abakulira amatendekero g’abasomesa abayizi mu masomo g’eby’obulamu, ekya Association of principles of health trainings in Uganda, agambye nti abayizi abatanaweza myaka 18 basinga mu matendekero agatwala abayizi abakamala S.4.