Omujulizi omutuukirivu Lukka Baanabakintu!
Ono ye muwolereza w’abavubi, balubbira, bamakanika, abayizi mu masomero, n’abaweesa.
Lukka Baanabakintu yafa muliro nga 3 June 1886 e Namugongo.
Yazaalibwa Ntolomwe mu Butambala mu mwaka 1852.
Yazaalibwa omusajja Mukwanga ow’emmamba ne nnyina Kusuubiza ow’envuma.
Mu biseera bye, Baanabakintu yali mukomazi lukulwe era omuweesa atawunyikamu.
Lukka bweyannyikira ekigambo kya Katonda, yavanga e Mityana gyeyali abeera buli lwa Sunday okugendanga e Mitala Maria ewaali ekigo, okusoma Emmisa n’okukusula enjigiriza y’Omusossordooti.
Oluvannyuma enjiri eyo yagitwaliranga Matia Mulumba eyagiddirangamu abalala.
Okuva e Mityana okutuuka e Mitala Maria waliwo mmayiro 40 era yatambuzanga bigere!
Baanabakintu yabatizibwa nga 28 May 1882.
Mu lubiri, Lukka yali mwetowaaze nnyo, muwulize ate ng’ekisa kimutiiriika butiiriisi ebyamufuula omuganzi ennyo eri Kabaka.
Yayokebwa ku myaka 30 egyobukulu.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K