Uganda eweereddwa engule ey’okusiima abakulembeze abaakola ekisoboka okutaasa obulamu bwa banna Uganda obutakosebwa nnyo kirwadde kya Covid 19 lumala bantu.
Ekibinja ky’abakulira eby’obulamu okuva mu Uganda ekikwasiddwa engule eno mu kibuga Toronto e Canada.
Kikulembeddwamu Minister weebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, omuteesiteesi omukulu mu ministry yeebyobulamu, Dr. Diana Atwine, akulira ebyobujjanjabi mu ministry eno, Dr. Henry Mwebesa, yeeyakulira ebikwekweto ku balwadde ba Covid Incident Commander, Lt. Col. Dr. Henry Kyobe.
Engule eno ekwasiddwa Uganda wakati mu lukungaana lw’amawanga agenjawulo, olutudde okukubaganya ebirowoozo ku ngeri ekirwadde kya Covid 19 gyekyakosaamu ensi, olusookedde ddala bukya ekirwadde kino kirangirirwa nti kyakendeera amaanyi.
Covid 19 yabalukawo mu mwaka 2019 nga gugwako mu China, kyokka nga mu Uganda yatuuka mu mwezi ogwokusatu mu mwaka 2020, era ebibalo biraga nti abantu emitwalo 17 bebaakwatibwa, abantu 3,600 baafa ekirwadde kino mu bbanga lya myaka 2.
Engule ewereddwa Uganda, yakusiima obukulembeze obwayolesebwa mu nkwata y’ekirwadde kino.
Kinajjukirwa nti president Museveni yalangirira omuggalo ku ggwanga lyonna nga 18 March,2020, n’amasomero gonna negaggalwa, era waayitawo ennaku 3 zokka Uganda neefuna omulwadde eyasooka nga 21 March,2020.
Uganda olwava mu muggalo gwa 2020.m ate mu 2021 ekirwadde n’ekiddamu okunyinyiitira mu muyaga gwakyo ogwayitibwa Delta variant ng’olwo akawuka kazeemu okweyubula.
Minister w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, mukwogerako ne CBS agambye nti engule ebawereddwa kabonero akalaga nti omulimu gwebaakola gusiimibwa.
Yebazizza banna Uganda olwenkolagana eyaliwo mu kiseera kya Covid 19, wadde kyali kyakusoomozebwa kwamaanyi, ekitayinza kwerabirwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis