Uganda ekwata ekifo kya 8 ku lukalala lw’amawanga 10 agasinga okulima emmwanyi mu nsi yonna.
1.Brazil
2.Vietnam
3.Colombia
4. Indonesia
5.Honduras
6.Ethiopia
7.India
8.Uganda
9.Mexico
10. Guatemala
Ebibalo ebyafulumizidde mu mbalirira y’Obwakabaka bwa Buganda eya 2024/2025 , biraga nti okuva mu mwaka gwa 2016 enteekateeka y’emmwanyi terimba lweyatongozebwa mu Buganda, emmwanyi Uganda zetunda ku katale k’ensi yonna zeyongera okulinnya buli mwaka n’ebitundu 51.7%.
Mu mwaka gwa 2016/2027 Uganda yatunda emmwanyi enwawo obukadde 5,600,000, nga ku zino ezzava mu Buganda zaali ensawo obukadde 2,100,0000.
Mu 2017/2018 ensawo z’emmwanyi Uganda zeyatunda ku katale k’ensi yonna zaali obukadde 5,600,000, ezaava mu Buganda zaali ensawo obkadde 2,300,000.
Mu 2018/2019 emmwanyi Uganda zeyatunda zaali ensawo obukadde 7,000,000, ku zino kwalio ezaava mu Buganda obukadde 2,500,000.
Mu 2019/2020 zaali ensawo obukadde 7,800,000 Uganda zeyatunda ku katale k’ensi yonna, so ng’ezaava mu Buganda zaali ensawo obukadde 2,700,000.
Mu 2020/2021 Uganda yatunda ensawo obukadde 8,100,000, ezaava mu Buganda zaali ensawo obukadde 2,700,000.
Mu 2021/2022 emmwanyi eziweza ensawo obukadde 8,500,000 Uganda zeyatunda ku katale k’ensi yonna, era ng’ezaava mu Buganda kwaliko ensawo obukadde 2,900,000.
Mu nteekateeka ya Buganda ey’okukubiriza okulima emmwanyi, abantu emitwalo 502,758 bebafunyemu emirimu. Waliwo abalimisa ku masaza 18 baafuna emirimu, ku magombolola bali 540, ku miruka bali 16,200, ku byalo abantu emitwalo 486,000 bebafunye emirimu egiva mu bulimi bw’emmwanyi mu Buganda.
Essaza Buddu lyerisinga okulima emmwanyi ennyingi mu Buganda, era nga basinga kulima ekika ky’emmwanyi ekya Robusta, ekiweza ebitundu 80%.
Mu mwaka gw’ebyensimbi ogugenda okugwaako 2023/2024, kampuni ya Mmwanyi Terimba Ltd, yatunda emmwanyi za kase kiro 285,023 mu mawanga okuli Libya, Chaina,Algeria,Morrocco,South Africa, United Arab Emirates, Estonia ne Russia.
Emmwanyi zino zaali zibalirirwamu obuwwimbi bwa shs 3,939,215,358.