Police etandise omuyigo ku musirikale waayo agambibwa okukuba omuntu amasasi agamutiddewo ku luguddo lwa Ssezibwa mu Kampala.
Anonyezebwa ye PC Bahati Charles nga ali ku namba ya police 55915, agambibwa okukuba amasasi Ssemwaka Julius abadde dereeva w’emmotoka No. UAX 460C ku luguddo lwa Ssezibwa.
Kigambibwa nti bafunye obutakkaanya, omusirikale wa police Bahat Charles n’akuba munne amasasi era bwamaze okukola obutemu buno nadduka.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma agambye nti batandise okukunganya obujjulizi okumanyira ddala ekibaddewo, nga bwebanoonya omusirikale wabwe adduse.#