Ayi Ssabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, Nnamunswa, Omuteregga, Maaso moogi, Magulu Nnyondo, Ssebuufu Bwa ngo, Omuteregga, Chuucu, Lukoma Nnantawetwa, Nnantalinnya mu Kateebe, Ssaabalongo, Sserwatika Lwa ttaka, Empologoma Ya Buganda.
Nze Musajja wo Thomas Tayebwa, Okuva e Ruhinda North, Mitooma District. N’essanyu Eringi Ennyo, Ntwala Omukisa guno, Wamu Ne Famile Yange, Okukuyozaayoza, wamu Ne Buganda Yonna Okutuuka ku Matikkira Ag’emyaka 30 nga oli Ku Nnamulondo Olamula Obuganda. Yogaayoga Ayi Beene!
Ayi Ssaabasajja, Emyaka 30 Nga Olamula Obuganda, Abantu Baffe, Awatali Kwawulayawula mu mawanga wadde Eddiini, Bafunyemu Ebirungi Bingi Nnyo. Okulyanyisa Obwavu, Okulwanyisa edwadde (Nnalubiri ne Mukenenya), N’okuleeta enkulaakulana mu Buganda ne Uganda nga Obwakabaka Bukolaganira wamu ne Gavumenti eya wakati. Tusaba Mukama Katonda Ayongere Okukuuma Akuwe n’eddembe.
Wangaala Maasomoogi, Empologama ya Buganda.
Bya : Thomas Tayebwa
Omumyuka wa sipiika wa parliament ya Uganda
Ku myaka 30 egy’amatikkira ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II